Amawulire

Abantu basatu abagambibwa nti baludde nga bali mabega w'okutema abantu ebijambiya

Abantu basatu abagambibwa nti baludde nga bali mabega w'okutema abantu ebijambiya ne babanyagako ebyabwe, bakwatiddwa e Mityana. 

Abantu basatu abagambibwa nti baludde nga bali mabega w'okutema abantu ebijambiya
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu basatu abagambibwa nti baludde nga bali mabega w'okutema abantu ebijambiya ne babanyagako ebyabwe, bakwatiddwa e Mityana. 

Kidiridde abavubuka babiri abaabadde batambulira ku pikipiki, okufumbikiriza omukyala ne bamunyagako ebintu bye ne babulawo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana. 

Kitegeezeddwa nti mu kugezaako okudduka, poliisi ennawunyi, yabasuuzizza pikipiki era nga yeyambyeko abasirikale, okubalondoola. 

Abakwatiddwa, kuliko yokaana Bisiridde ne John Kabuuka wamu n'omukyala  Prossy Nassuuna omutuuze w'e Namukozi, agambibwa okubayambako ku mulimu ogwo.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala , Lamerk Kigozi, agambye nti bano babadde bateega aba mobile money, abasuubuzi b'obutale, amaka n'abo abakola emirimu egyenjawulo ne babatema n'okubabba. 

Agasseeko nti bangi ku basuubuzi n'abantu babulijjo, batuusiddwako ebisago era n'abasaba okugenda ku poliisi e Mityana, baweeyo sitatimenti zaabwe