ABANTU b’e Kiteezi bacoomedde KCCA nga bagamba nti yabalyaazaamanyizza mu ngeri gye yabaliyiriddemu ku bintu byabwe ebyabuutikirwa kasiro.
Charles Kabunga eyafiirwa abaana ababiri abaali mu siniya ku Kololo SS, yagambye nti KCCA yabawadde ssente ntono okusinzira ku bintu bye bafiirizibwa omwali poloti, amayumba omwali ebintu ebyebbeeyi nga tewali kyalama.
Abalala baafiirwa ebisolo ne poloti ennene ddala okwali ebizimbe eby’enjawulo. Kabunga gwe baawadde obukadde 20, agamba nti tezigya mu bye yafiirwa era asabye KCCA ekomewo ebalirire, bwe kigaana abatuuze bazzeeyo ssente basigaze ettaka lyabwe.
Yayongeddeko nti omulundi ogusembyeyo KCCA yaliyirira abantu 96 abaalina amayumba agaabuutikirwa n’amalala agayingiramu amazzi nga baagaba obukadde obuli wakati w’obutaano ne 96.
Haji Kironde, eyafiirwa abaana 4 n’omukyala ssaako ebintu byonna mu nnyumba, yalina emizigo, ente musanvu, embuzi 5 nga byonna talina kye yataasa wabula baamuliyiridde obukadde 29.
Ono yagambye nti kyamuyitiriddeko kuba ssente ezaabaweereddwa ntono ddala. Ekirala nti bakyasobeddwa nga tebamanyi kituufu KCCA kye yasasulira kuba tewali ndagaano yonna eyakolebwa wakati waabwe ne KCCA kulambika kye baliyirira. Alumiriza nti okubalirira okwakolebwa tekwali kulambulukufu kuba tebalabangako muntu yenna ku ttaka lino kubalirira.
Jackie Namata, eyafiirwa mulamu we n’abaana basatu, famire ya mwannyina Ronald Kimera yagambye nti yaweereddwa obukadde 32. Yagambye nti enguzi efumbekedde mu Gavumenti y’ebaleetedde okuliyirirwa obuswazzi ate nga baafiirwa poloti ez’ebbeeyi nga kizibu okuddamu okuzifuna.
Julius Waguma eyafiirwa omukyala n’omwana ow’emyaka 19 gattako ennyumba ye ya bisenge bina n’embuzi ttaano, baamuliyiridde obukadde 30. Yagambye nti baagala okutegeera akakung’unta KCCA ke yakozesa mu kubaliyirira kuba tebaamatidde na byonna ebyakoleddwa.
Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abiine yagambye nti okubalirira ebintu ebyayonooneka kwakolebwa omukugu okuva mu ofiisi y’ebyettaka.
Yayongeddeko nti omukugu ono yageraageranya buli omu bye yafiirizibwa n’alaga ssente z’alina okuliyirirwa. Yasabye bwe wabaayo eyeemulugunya ku ngeri gye yaliyiriddwaamu, addukire mu ofiisi y’ebyettaka