Amawulire

Gwe alaajanaGwe baatemedde emiti alaajana

DICKSON Ssemyalo Ssali g’akaaba g’akomba olw’okumutemera emiti gye gy’abadde akozesa mu kujjanjaba n’okutangira endwadde ez’enjawulo.

Gwe alaajanaGwe baatemedde emiti alaajana
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

DICKSON Ssemyalo Ssali g’akaaba g’akomba olw’okumutemera emiti gye gy’abadde akozesa mu kujjanjaba n’okutangira endwadde ez’enjawulo.
Mu gimu ku miti egyatemeddwa mulimu n’egijjanjaba kookoolo, Ssemyalo gy’agamba nti okugisimba, yafuna obuwagizi okuva ew’eyali Pulezidenti wa America, Bill Clinton mu 1998.
Ono nga mutuuze w’e Nanga mu ggombolola y’e Kimenyedde mu Mukono agamba nti yabadde agenze kutema muddo gwa nte ze wabula yageanze okudda nga waliwo ekibinja kya bakifeesi abakutte embazzi, amajambiya n’emiggo nga batema emiti gye.
Ssemyalo agamba nti emiti gino gibalirirwamu obukadde 300 era alumiriza nti obuzibu bwandiba nga bwekuusa ku ndooliito z’ettaka mu famire yaabwe.
Emiti egyatemeddwa kuliko; entaseesa, ovakkedo, emisizi, emigavu, ffene, emisambya, akabalira n’ebika ebirala by’abadde ajjanjabisa mu ngeri y’obutonde nga ne yunivasite ez’enjawulo mu ggwanga zijjumbira emiti gino mu kunoonyereza.
Ng’oggyeeko emiti, bakifeesi baasaanyizzaawo yiika y’obutunda era wano yakubidde poliisi y’e Nakifuma eyataasizza.
Okusimba emiti gino Gavumenti ya America ye yamussaamu ssente oluvannyuma lw’eya Uganda okumuteerayo akabega kuba eyali minisita w’ebyobulimi, Dr. Kisamba Mugerwa yajja n’alambula omulimu guno.
Wabula Semyalo yeemulugunyizza olwa poliisi y’e Nakifuma okukwata abaasaaye emiti gye abaakulembeddwa Hussein Kato ne baggulwako ogw’okwonoona ebintu ku fayiro;16/07/02/2026 kyokka ate ne bayimbulwa