ABANTU 5 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mayuge n'abalala babiri ne batuusibwako ebisago eby'amaanyi.
Kabaddemu emmotoka nnamba UAE 145H Benz loole ne pikipiki nnamba UGH 904 L TVS Star era ng'ebidduka byombi bibadde biva ku ludda lwa Namayingo okudda e Mayuge.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abafudde bonna babadde batambulira ku pikipiki era ng'ebidduka bitwaliddwa ku poliisi e Mayuge.