Amawulire

Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli

Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli

Emmotoka emu ku zaafunye akabenje
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudde e Nawanyago ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli. 

Akabenje kabaddewo mmotoka TATA nnamba UBL 841L bw'etomedde double cabine Nissan nnamba UAM 516Z era dereeva wa kabangali atannamanyika bimukwatako n'afiirawo.  

Ye dereeva wa loole adduse oluvannyuma lw'akabenje era nga bamuyigga. 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti dereeva wa loole emulemeredde olw'endiima n'akoona kabangali n'atta dereeva waayo