Amawulire

Omusamize asazeeko obulago bw'omwana gwe babadde bamutwalidde okusawula!!!

Sava Muntu (14) abadde asoma P4 mu ssommero lya Damasco P/S mu ggombolola y'e Kikyusa mu Luweero ye yattiddwa bwe yabadde atwaliddwa ku lusozi ew'omusamize ono okumugobako ebyawongo ebibadde bimutewanya.

Omusamize asazeeko obulago bw'omwana gwe babadde bamutwalidde okusawula!!!
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

POLIISI y'e Luweero ekutte omusamize Godfrey Lule agiyambeko okubuuliriza ku muyizi eyasaliddwa ekiso ku bulago ng'amusawula ekyamuviiriddeko okufa.

Sava Muntu (14) abadde asoma P4 mu ssommero lya Damasco P/S mu ggombolola y'e Kikyusa mu Luweero ye yattiddwa bwe yabadde atwaliddwa ku lusozi ew'omusamize ono okumugobako ebyawongo ebibadde bimutewanya.

Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti omugenzi kitaawe amanyiddwa nga Kalyango oluusi nga yeeyita Konoweeka yabadde amusindise  ku lusozi e Bugabo mu muluka gw'e Mabuye mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero ew'omusamize ono abeeko byamukolako.

Kigambibwa nti omwana ku lusozi yagenzeeyo ne nnyina Christine Nabuuma oluusi gwe bayita Mumbejja  era nti  olwamaze  okulya ekyeggulo n'agenda okwebaka ku kyoto n'omusamize nga nnyina naye yeebase kumpi n'ekyoto.

Wabula nti mu matumbibudde omusamize yasiseeyo ejjambiya n'akkira  omwana n'amusala ensingo ku ludda olwa kkono  era ekiwundu ne kimuviirako okufa

Nnyina olwalabye bino n'akuba enduulu era omusamize yabadde agezaako okudduka ne bamukwata.

Twineamazima ategeezezza nti nnyina w'omwana naye baamukutte abayambeko mu kunoonyereza nga omulambo baagututte mu ggwanika e Kasana  okwekebejjebwa ate ebizibiti ne bitwalibwa ku poliisi

Tags:
Musamize
Bulago
Kutwala
Mwana