Amawulire

Poliisi eggalidde omusajja eyakwatiddwa n’omutwe gwa muganzi we

Poliisi e Mukono eggalidde omusajja agambibwa okukkakkana ku muganzi we n’amutemako omutwe n’agutwala okugukolerako ebyawongo ew’omusamize ate ekiwuduwudu n’akiziika mu lusuku okuliraana ewuwe.

Nyawede
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Poliisi e Mukono eggalidde omusajja agambibwa okukkakkana ku muganzi we n’amutemako omutwe n’agutwala okugukolerako ebyawongo ew’omusamize ate ekiwuduwudu n’akiziika mu lusuku okuliraana ewuwe.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, omugenzi ye Jackline Nyawede (25) abadde atunda gonja mu
katale e Namawojjolo. Agambibwa okumutta y’abadde muganzi we, Abu Muyagu (28), ng’atunda mazzi mu katale ke kamu ow’oku kyalo Wakiso mu ggombolola y’e
Nama mu Mukono.
Onyango yategeezezza Bukedde nti Muyagu yakwatiddwa n’abantu abalala babiri okuli
omusamize, Mubarak Kizito (34), ne James Bakkabulundi (28) nga bakuumirwa ku poliisi y’e Mukono.
Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Namawojjolo East, Noah Katuka atwala ekitundu omuli akatale k’e Namawojjolo mikwano gya Nyawede gyekubidde enduulu ku poliisi oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga tebamulaba. Onyango yagambye nti poliisi
y’e Mbalala etwala ekitundu ekyo yafuna okwemulugunya nti Nyawede yabula mu ngeri etategeerekeka nga April 27, 2025. “Bwe baanoonyereza ku ssimu y’omugenzi, baalaga ng’eyali muganzi we, Muyagu ye yali agirina wabula oluvannyuma yavaako.
Abaserikale baakwata Muyagu era bwe baayaza ne basanga essimu n’omutwe gw’omugenzi nga bizingiddwa mu bigoye.
Muyagu yatutte poliisi mu kifo gye yaziika ekiwuduwudu ebyatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago