POLIISI e Luweero, ekutte Omusamize agambibwa okusala omulwaddewe obulago n'amutta.
Ettemu libadde ku kyalo Bugabo mu muluka gw'e Mabuye mu Ggombolola y'e Kamira e Luweero , omwana ow'emyaka 14 Sava Muntu bw'attiddwa mu ntiisa n'obukambwe.
Kigambibwa nti bwe bamaze okulya emmere eyabagabuddwa nnyina w'omugenzi Christine Nabuuma amanyiddwa nga Mumbejja, omusamize n'omugenzi baasuze bombi.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twiineamazima, agambye nti nga bukya, kigambibwa nti omusamize kwe kumusala obulago n'oluvannyuma n'agezaako okudduka kyokka olw'enduulu, n'akwatibwa era ne bamuggalira nga bwe bayigga n'abalala