Amawulire

Akulira Vision Group Don Wanyama asabye abantu okujja mu kivvulu kya Makoma Band nga Newvision ejaguza  emyaka 40

NGA Vision Group ejaguza okuweza emyaka 40 kasooka etandikibwawo, agikulira Don Innocent Wannyama, akoowodde abantu okujja obungi e Kololo mu kivvulu kya Makoma band.

Don Wanyama wakati ng'ali ne ba Makoma
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

NGA Vision Group ejaguza okuweza emyaka 40 kasooka etandikibwawo agikulira Don Innocent Wannyama, akoowodde abantu okujja obungi e Kololo mu kivvulu kya Makoma band .

Makoma nzaalwa y'e  Congo naye nga bawangaalira Budaaki era nga bamaze emyaka egiwerako nga bayimba ennyimba ezitendereza omutonzi.

Ekivvulu kino, kyakubaawo ku Lwokutaano e Kololo Ceremonial Grounds era nga tiketi zitundibwa ku mikutu eri oyo anakyetabamu ku olwo.

Wannyama, asiimye abantu abazze bawagira kampuni ya Vision Group nga balaba , okuwuliriza n'okusoma emikutu gyaffe, okutuwa ebirango, okutuwabula , n'okutubeererawo mu mbeera yonna.

Asanyukidde aba Band ya Makoma era n'abaagaliza ebikujjuko ebirungi n'akowoola Bannayuganda n'Abacongo abali muno, okuggweera mu kisaawe e Kololo.

Omu ku bategesi b'ekivvulu kino Owen Bigombe okuva mu Pacific invents,  naye akoowodde abantu okujja mu bungi.

Akulembeddemu Bandi eno, Natalia Makoma, ategeezezza nti, baasemba okujja muno emyaka 25 egiyise era ng'ekibakuumye nga b'amaanyi, kwe kuyimbira Katonda, okumutendereza n'okumussaamu obwesige olubeerera.

Tiketi ekuyingiza shs 50,000/ VIP 100,000/  abanaasasulira ku kisaawe, abasembayo ba shs 150,000/ ne VVIP ya shs. 250,000.

Mu kivvulu bakuwerekerwako abayimbi abaamuno okuli Paster Wilson Bugembe, Recheal K, Best Emilly , Brain Lubega n'abalala