Abantu babiri abagambibwa okukuba omuntu akatayimbwa ne bamuttira ku Kaleerwe mu Kampala, embwa ya poliisi ebakutte.
Kidiridde abatemu okutta Kabugo 34 omutuuze ku Kaleerwe, omulambo ne baguleka okumpi n'olukomera lwa garagi.
Abakwatiddwa kuliko Sebunnya n'omulala ategeerekese nga Johnson era nga bakuumirwa ku poliisi e Wandegeya.
Kabugo yakubiddwa akatayimbwa eggulo, omulambo era gwasangiddwa okumpi n'olukomera lwa Dusuma Garage, ekyawalirizza poliisi okutwala embwa yaayo ekonga olusu gye bayita Pepper n'ewunyiriza.
Yasoose mu mita nga kkumi okuva we battidde omuntu n'eyingira mu kayumba k'omukuumi wa garage ne yeyongerayo okuzuula akatayimbwa okuli omusaayi n'effumu era bombi ne bakwatibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti bakyababuuza akana n'akataano okuzuula ekituufu.