ABANTU basatu abagambibwa okwenyigira mu kutemula abavuzi ba boodabooda ne bazibabbako, bakwatiddwa mu kikwekweto ekigenda mu maaso e Nsangi.
Abakwatiddwa, kuliko Kefa Kaboggoza 22 amanyiddwa nga Kivumbi, Shafik Bagala nga yeyita Yanga, era nga yennanyini garagi Younger's Garagi e Buwali Nsangi okumpi ne Emma Petrol Station, ne Samson Eryatuha nga mukuumi mu parking .
Okubakwata, kidiridde Kaboggoza nga makanika era omutuuze w'e Kigwanya Cell, ku bigambibwa nti yabbye pikipiki nnamba UFU 119N nga Feb 27, okuva mu Saviro Arua n'agitwala e Nsangi.
Kitegeezeddwa nti yagitutte mu garagi ya Younger ne bagezaako okugikyusa era poliisi mu kubazingako , waliwo pikipiki endala ezigambibwa okuba enzibe, ezaazuliddwa nga kuliko UFU 119N, UMA 399DF Spiro, UEU 629L ne spare .
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti bakyagenda mu maaso n'okufuuza abalala abali mu kabinja kano