Amawulire

Ebigezo by'abasawo bikomyewo

Ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by'abasawo n'abo abasoma eby’ekuusa ku busawo ki Uganda Health Professions Assessment Board kifulumizza ebyava mu bigezo byabasawo 

Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo by'abasawo
By: Sharon Nabasirye, Journalists @New Vision

Ekitongole ekibaga n’okugolola ebigezo by'abasawo n'abo abasoma eby’ekuusa ku busawo ki Uganda Health Professions Assessment Board kifulumizza ebyava mu bigezo byabasawo .

Omukolo gw’okubifulumya gubadde mu maka g'obwa Pulezidenti e Nakasero era nga minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni yabadde omugenyi omukulu.

Minisita Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo

Minisita Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo

Bino bibadde bya mulundi gwa kubiri nga Ekitongole kino kyekivunaanyizibwa ku bigezo bino , bino byatuulwa mu December wa 2025 era abayizi ababituula baali 100,272  okuva mu matendekero 215.

Ssentebe wekitongole kino Dr. Alfred Driwale ategeezezza nti ku bayizi 100,272 abatuula ebigezo , abayizi 81,230  bakyeyongerayo n’emisomo gyabwe ate 19,042 bebaakola ebyakamalirizo

Ategeezezza nti nga ekitongole bamalirivu okulaba nga bafulumya abaweereza mu by’obulamu abakugu obulungi era abamalirivu mu mirimu gyabwe ekintu ekigenda okuyamba okusitula wamu n’okulakulanya eggwanga .

Ssabawandiisi w’ekitongole Hellen Mukakarisa Kataratambi ategeezezza nti ebibuuzo ebifulumye leero byabo 19,042 abakoze eby’akamalirizo

Ku bano 5,377(28.2%)  ba dipulooma ate 13,665(71.8%) ba satifikeeti .

Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo

Janet Kataha Museveni nga bamukwasa ebigezo

Abayizi 12,989(68.2%) bawala ate 6,053(31.6%) balenzi 

Mu nkola y’abayizi Mukakarisa ategeezezza nti abayizi  ba satifikeeti 95.8% bayise , 215(1.6%)  bagudde ate 361(2.6%) tebatuula okwawukanako  n’aba dipulooma 83.2% abayise  724 (13.4%)  bagudde ne 184(3.4%) . 

Minisita w'ebyenjigiriza n'emizannyo Janet Kataha Museveni  asiimye ekitongole olw’omuwendo gw’abaana ogw’eyongedde mu busawo wamu n’okukola obulungi mu bigezo .

Asabye abayizi okutwala bye basomye nga okuyitibwa okuweereza so si nga abafunye obufunyi empapula z’obuyigirize