AKULIRA ekitongole kya KCCA Hajjat Sharifa Buzeki agenze e Kasubi n’agoba akatale kómu buulo akabeera ku kkubo n’alagira embaawo n’ebimeeza byonna abasuubuzi kwe babadde bakolera bitikkibwe ku loole bitwalibwe
Bino byabaddewo ku Lwomukaaga, Hajjati Buzeki bwe yagenze e Kazibi mu zzooni I ne zooni II mu kaweefube w’okukunga abatuuze baayo mu nkola ey’ebufe wókukunga abatuuze baayo mu nkola ey’okweyonja eyatuumibwa weeyonje n’asanga nga waliwo abasuubuzi abayiye ebintu byabwe batandike okutunda ku Lwamukaaga n’agamba nti mu Kampala tewakyali butale bw’aku makubo.

EKifo we battira enkoko kye basanze nga kicaafu nnyo
Yalagidde abaserikale ba KCCA okukung’aanya ebimeeza byonna abasuubuzi bye babadde baleese okuteekako emmaali yaabwe batunde bimenyebwe bitikkibwe ku loole bitwalibwe kuba amateeka g’ekibuga tegakkiriza bantu kukolera mu bifo ebitakkirizibwa okujja okugenda mu butale bafune emidaala kwe baba bakolera.
Ku mbeera y’obuyonjo Buzeki yasabye abantu obutamala gamansa kasasiro buli we basanze kuba kino kiyinza okuvaako endwadde wabula kasasiro bamuteeke mu bifo abamuyoola we bamusanga bamutwale.
Bino yabyogedde ali mu Kasubi zzooni I gye yasanze mu kifo we basalira enkoko nga wacaafu nga abakolerawo tebalina we bakung’aanyiriza mazzi na musaayi ssaako okusanga nga wajjudde kasasiro.
Yalagidde kkampuni ya Nabugabo Updeal Joint Venture okwongera amaanyi mu kuyoola akasasiro okuva mu bantu aleme kwetuuma bantu kuba bajja kumumansa mu bifo ebitakkiziriza nga emyala.
Akulira eby’obulamu mu KCCA, Dr, Sarah Zalwango yagambye nti ekifo we basanze nga basalira enkoko kyabadde kisusse obucaafu ate nga bakola mu byakulya.
Yabasabye bakirongoose mu bwangu, balongoose n’omufulejje mwe bayiwa bye basaze era n’asaba n’abakulembeze mu kitundu okutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga ebitunfu byabwe biyonjo.