Amawulire

Eyakwakudde ensawo eyabaddemu obukadde 21 poliisi emukutte

ABABBI abatambulira ku bodabooda balondodde omukazi abadde yakaaggya obukadde 21 mu bbanka ne bamukwakkulako ensawo badduke kyokka poliisi n’etaayizaako omu n’emukwata

Eyakwakudde ensawo eyabaddemu obukadde 21 poliisi emukutte
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABABBI abatambulira ku bodabooda balondodde omukazi abadde yakaaggya obukadde 21 mu bbanka ne bamukwakkulako ensawo badduke kyokka poliisi n’etaayizaako omu n’emukwata

Ssente ezaabadde mu nsawo Wagaba ze yanyakudde.

Ssente ezaabadde mu nsawo Wagaba ze yanyakudde.

Bino byabaddewo ggulo ku Lwokutaano   e Najeera omukyala  Deborah Nakawombe bwe yagenze mu bbanka e  Ntinda n’aggyayo ssente obukadde 21  n’apangisa bodabooda okumutwala wabula ababbi nabo ne bamugoberera  n’ekigendererwa eky’okuzimubbako.

 

Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Nakawombe bwe yavude e Ntinda yayolekedde  e Buwaate gy’asula kyokka yabadde atuuka e Najjeera ne wabaawo bodaboda okwabadde abantu babiri ne batukako ku misinde emiyitirivu gwe babadde baweese n’amusikambulako ensawo.

Wagaba gwe baakutte n'ensawo.

Wagaba gwe baakutte n'ensawo.

Yagambye nti ababi bano tebaabaddemu yadde okutya kuba Nakwombe bamusikambuddeko ensawo e okumpi n’essundiro ly’amafuta eritali wala ne poliisi  era nga yamuviiriddeko okukuba enduulu abaserikale ne basitukiramu.

 

Yategeezezza ni abaserikale baataayizza ababbi bano ne bakwata Hussein  Wagaba 27, abaeera e Kayunga mu Wakiso ng’ono ye yakwakkudde ensawo omwabadde ssente okuva ku  Nakawombe wabula eyabadde avuga nadduka nga yakozesezza akakisa nti oluguudo lwabaddeko ebidduka bingi nga abaserikale tebasobola kufulumya masasi.

 

Yagambye nti waliwo obubinja bw’ababbi obuteega abantu wabweru wa bbanka ssaako obulondoola abatambula ne ssente enyingi nga akabinja akalondoola omusajja ke kamubbako ensawo omwali ssente mu ppaaka ya ggwanda mu Kisenyi.

 

Yalabudde abantu okusooka okwekenneenya embeera wamu n’abantu be balaba wabweru wa bbanka kuba abamu ku bo babeera babbi nga abo abaabadde banyakudde ensawo ku Nakawombe.

 

 

Tags:
Wagaba
Nsawo