ABAZIGU abagambibwa okugezaako okulumba owa mobile money bamunyageko ssente e Bugoloobi, poliisi ebasuuzizza emmundu ne badduka.
Kiddiridde ababbi ababadde batambulira ku pikipiki, okugezaako okulondoola omukozi wa mobile money e Bugoloobi nti kyokka poliisi ennawunyi mu kugezaako okubakwata, basuddewo emmundu n'ebabulawo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bali mu kulondoola ababadde nayo .
Mu kusooka Owoyesigyire, ategeezezza nga bwe baliko abantu 42 abaayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa e Kirinnya, Wandegeya, Kira Rd, Jinja Rd, Old Mulago, Lower Nsoba, Kamwokya, Mawanda Rd, Nansana , Kito A ne B, Namataba ne Kirinnya Main.