Amawulire

Ab'essiga eddamuzi bategese omusomo ku mateeka

ESSIGGA Eddamuzi litegese omusomo ku mateeka ogutuumiddwa GUMZO n'ekigendererwa  ky'okumanyisa abantu engeri gyebasobola okutabaganamu nga bali ebweru wa kkooti.

Mao Ng'annyonnyola
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Frank Ssentongo 

ESSIGGA Eddamuzi litegese omusomo ku mateeka ogutuumiddwa GUMZO n'ekigendererwa  ky'okumanyisa abantu engeri gyebasobola okutabaganamu nga bali ebweru wa kkooti.

Akulira akakiiko ka ssemateeka Nobert Mao ategeezezza nti omusomo guo gugenda kubeera ku Mystil Hotel e Nsambya okuva nga 9 okutuuka nga  13 omwezi guno.

Mao ategeezezza nti omusomo guno gugenda kubaanu bannamateeka okuva mu mawanga amalala babangule bannayuganda mu nsonga z'amateeka 

Mao ayongeddeko nti abantu abasinga balowooza nti bappuliida bokka bebalina okumaliriza enonga naye ng'amazima gali nti n'okutabagana kikulu nnyo ebweru wa kkooti ssaako n'okukendeeza ku buzito bw'ekibonerezo ekyandimuweereddwa

“ Abantu abagenda okwetaba mu musomo guno mulimu; Abazzi b’ebisango, abatabaganya. Era omukolo guno gugenda kukunganya abatesitesi bamateeka ssaako ne abantu abagwa mu ssiga eddamuzi…” Mao bwategeezezza.