WABADDEWO ddukadduka mu kiro ekikeesezza leero, poliisi e Kasanje bw'ebadde egobagana n'abagambibwa okubeera ababbi b'ente.
Omuntu omu akwatiddwa n'ente egambibwa okuba enzibe nayo n'azuulibwa mu kitoogo e Kasanje ku luguudo oludda e Nakawuka.

Ente egambibwa okuba enzibe
Kigambibwa nti ente ezuuliddwa, ya mutuuze Augustine Sseruwagi era nga bagikukunudde mu kitoogo kya Bimbi. Ramanthan Zimbwe ow'e Kyengera agambibwa okuba emabega w'obunyazi buno, naye akwatiddwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti omuyiggo gw'abalala gukolebwa.
Abeebijambiya abagambibwa okuyingirira omutuuze e Katabi ne beekweka mu ngalama y'ennyumba poliisi ebakukunuddeyo