ABANTU 14 be balumiziddwa mu bubbi bwa pikipiki obw'enjawulo obuzze bubaawo mu Kampala n'emiriraano.
Okuva mu June w'omwaka oguwedde okutuusa kati, pikipiki ezisoba mu 40, ze zaakabbibwa era ng'abantu 14 banyiga biwundu, era nga poliisi yaakakwatako 5 abagambibwa okuba ababbi.
Mu kikwekweto ekikoleddwa e Lubowa mu Ndejje mu Ssaabagabo Makindye e Wakiso, era bazudde ppikipiki emu nnamba UMA 663 HM egambibwa okuba enzibe .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti omuyiggo gw'abantu abalala, gukolebwa okusobola okumalirawo ddala obubondo buno.