KAZAMBI ayita mu nguudo ez’enjawulo mu Kampala atedde abasuubuzi ne mu bulabe nga beraliikirira okukwatibwa endwadde eziva ku bucaafu.
Kazambi esinze kwejirisiza ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kisenyi ng’akulukutira butereevu mu mmaali y’abasuubuzi abatunda eby’okulya ku luguudo luno,.
Emidumu gy'akazambi emirala ekiyita ku ngulu giri mmanju wa Namirembe Road ku Blue-Room era nga wano akulukutrira mu bifo awatundirwa eby’okulya n’okunywa nga kino kitadde obulamu bw’abantu mu matigga.

Ebimu ku bifo ebirimu kazambi
Joseph Senfuka nga musuubuzi wa birime ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa mu Kisenyi mu Kampala yategeezezza ku Lwokuna ku makya nti kazambi amaze ennaku bbiri ng’ayita ku ngulu mu kifo kino.
Yagambye bagezezzaako okutuukirira aba KCCA wamu n’ekitomngole ky’amazzi ne kazambi ku nsonga eno wabula nga kati ziweze ennaku bbiri nga tewanabaawo kikolebwa.
Ye Amina Namukasa nga naye musuubuzi wa birime emabega wa Namirembe Road yagambye emidumu gya kazambi mu kitundu kino buli enkuba bw’etonnya ennyingi ng’atandika okuyita kungulu wabula ng’agenda butereevu mu basuubuzi.

Kazambi
“Kyewunyisa okuba ng’ebifo ebisinga okubaamu kazambi ayita kungulu biri mu basuubuzi ba byakulya . Gavumenti bwetaaveeyo kwonganga buzibu buno Kamapala ayolekedde okuzindibwa endwadde z’obuligo omuli ne kkolera.” Namukasa bweyagambye.
Samuel Apedel omwogezi w’ekitongole ky’amazzi ne kazambi yagambye nti bagenda kusindika ba yinginiya baabwe mu bwangu ddala okulba nga ng’obuzibu buno babasalira amagezi.