Amawulire

Abasuubuzi ababadde bakolera ku nguudo e Mukono baweereddwa weeks bbiri okuzaamuka

WABALUSEEWO akasattiro mu basuubuzi abakolera ku mabbali g'enguudo ez'enjawulo e Mukono oluvanyuma lw'olukiiko lwa munisipaali eno okukkaanya era ne bayisa ekiteeso eky'okubafuumuula.  

Omukyala atunda ebibala naye agobeddwa
By: Joan Nakate, Journalists @New Vision
WABALUSEEWO akasattiro mu basuubuzi abakolera ku mabbali g'enguudo ez'enjawulo e Mukono oluvanyuma lw'olukiiko lwa munisipaali eno okukkaanya era ne bayisa ekiteeso eky'okubafuumuula.
 
Embeera y'okugoba abasuubuzi ku nguudo ezze yeyolekera mu bitundu by'eggwanga lino eby'enjawulo okuli Mbale, Jinja Kampala n'ewalala era nga bbo ab'e Mukono, kkanso yakaanyizza baweebwe omwezi gumu gwokka nga bazaamuse era ng'abanaalemererwa ba kukagavvulwa. 
 
Abagenda okusinga okukosebwa beebo abakolera ku luguudo lw'e Bukeerere mu divizoni y'e Goma,abakolera mu kabuga k'e Wantoni, Bugerere n'ewalala.
 
Balina bizinensi okuli abasika chips, chapati,emigaati, abatunda amata n'ebibala era nga banyonyodde okusoomoozebwa okuboolekedde mu kiseera kino ng'abakyala bbo ate bagambye nti abaami baabasuulira obuvunaanyizibwa bw'okulabirira amaka gaabwe.
Omu ku bakyaka abatunda ebibala naye aweereddwa agobeddwa

Omu ku bakyaka abatunda ebibala naye aweereddwa agobeddwa

"Tumaze ebbanga erisoba mu myaka omunaana nga tukolera wano kati bwe batugoba ng'ate tebalina we batuzza twewuunya kye tugenda okuzzaako.
Wano we tubadde tugya eky'okulya, batukkirize tukole akawungeezi naye ssi kutugobera ddala."Bano bwe baategeezezza.
 
Ssalongo Dick Mazinga omukulembeze w'abavubuka abava mu Ghetto e Mukono anyonyodde ng'abamu ku bano bwe babadde baakatandikawo bizinensi zaabwe ku nguudo zino wabula nga kati mweraliikrivu nti bano bandiddayo mu bikolwa ebimenya amateeka omuli okubba obusawo bw'abakyala n'okukuba abantu okusobola okwebeezaawo. 
 
Ye ssentebe w'abakolera ku luguudo oludda e Bugerere  Rashid  Lubwama  agambye nti ab'amaduuka bakoze kinene okulemezaawo banaabwe abakyalemedde ku nguudo olw'ensonga nti bano ensimbi ze babawa zibayamba kinene nnyo okusasula ebizimbe mwe bakolera ebiri ku buseere.
 
Amyuka omukubiriza w'olukiiko lwa munisipaali eno Rogers Bazannya agambye nti kino kikoleddwa okukuuma obuyonjo mu kibuga n'okukendeeza ku bubenje olw'emotoka eziwaba ne ziyingirira abakolera ku nguudo zino.
 
Akakasizza nga bwe bakola obutaweera okubafunira we bagenda okukolera