ABASIRAAMU bakubiriziddwa okwongera okweyisa obulungi mu maaso ga Katonda ne mu maaso ga bantu bannabwe mu kiseera ekisiibo nebwekinaaba kiwedde kino kyongere okubeera ensibuko y’emirembe mu nsi.
Bino byogeddwa Ambasadda Rashid Yahaya Ssemuddu bwabadde ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area mu Kampala nga yeegasse n’abasiraamu abakolera mu kkampuni eno okusiibulukuka ate n’okwongera okwebuulira ku buvunaanyizibwa bwebalina mu kisiibo ate nebwekinaaba kiwedde.

Akulira Obusiraamu mu Vision Group Sulaiman Mutebi ng'ayogera
Ambasadda Ssemuddu agambye nti ekikolwa eky’okuliira awamu ekikolebwa abantu naddala nga basiibulukula kiraga obwa Sseruganda nga n’olwekyo kano kalina okuba akabonero akalaga nti abantu balina okukolera awamu ate n’okweyisa obulungi eri Bannabwe nga kino kitangira n’entalo eziyinza okubalukawo mu bantu.

Abasiraamu nga balya ekijjulo
Ono asinzidde wano neyebaza Vision Group olw’obuwereeza bwayo obulungi eri eggwanga naddala amawulire okuva mu nzikiriza zonna wamu n’obukaba obw’enjawulo mu budde obw’ekisiibo kyeyagambye nti kigifudde kkampuni ya njawulo mu kisaawe ky’amawulire.
Ate Imaam w’omuzikiti gwa Mukwano Shek. Adam Walusimbi akubirizza Abasiraamu bonna mu ggwanga okwongera okusiiba ekisiibo nebwekinaaba kiwedde kubanga ng’ogyeeko okwebuulirira mu by’omwoyo, ate okusiiba kuyambako n’okutereeza emibiri gy’abantu mu by’obulamu.
Akulira ekibiina ekigatta Abasiraamu abakolera mu Vision Group Sulaiman Mutebi yasabye basiraamu banne okwongera okweyisa obulungi olwo basobole okubeera okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abalala.