Abasamize abagambibwa okusamirira omusambwa ogw'ekika mu kukola oluguudo lwa Ntenjeru-Bule oluwereza ddala kkiromita 17 kyaddaaki bapondoose ne bakkiriza oluguudo luno lukolebwe ku lw’obulungi n’enkulaakulana y’ekitundu kyabwe.
Bano bajjukirwa gye buvuddeko okukola embalirira ya bukadde 650 ez’emikolo eginaagoberera okutema omuti gw’omusambwa gwabwe gwe bayita ‘NAMUZIKIZA’ gwe bamaze emyaka nga bakkiririzaamu okubawa eby’amagero omuli okuwa abakyala enzaalo, okumanya endagabutonde z’abaana b’ekika ky’Olugave, okuwonya abantu endwadde, okufuna emikisa, n’ebyamagero ebirala ebiwera.
Mu gimu ku mikolo gye baalina okukola mwalimu okugula ente 9 era nti baalina okumala ebiro 10 nga batendereza bajjajja, nga bino byonna byalina okukolebwa okwewala obubenje okubeeranga ku luguudo luno ssinga emikolo gino tegikolebwa.
Oluguudo luno lwe lumu kwezo ezikolebwa e Mukono wansi w’enteekateeka ya Greater Kampala Metropolitan era nga luweza kiromita 17 ku nsimbi za world Bank.
Bajjajja okuli Ssalongo Mulo Masiko ne Sseremba bategeezezza nga emisambwa gyabwe emirala okuli Nakagga, Mpaakabya ne Namagulu bwe gyassizza obumu nabo oluvannyuma lw’ebiro ebisatu bye baamaze nga bagyebuuzaako okukkaanya n’enkulaakulana y’ekitundu kino era ng’omuti mwe babadde basinza, emisambwa gyakkiriza gutemebwe.
Bano era baataddewo akakwakkulizo okubakkiriza okukola ng’emikolo mu kifo kino mu kiseera oluguudo nga luwedde okukuuma ekitiibwa kye kifo kino n’obuwangwa bwabwe bye bakkiririzaamu, n’okusaba emikisa okuva eri bajajjaabwe, abakulu ku disitulikiti kye bakkirizza.
Akulira abakozi ku disitulikiti, Henry Ddamba akinogaanyizza nga World Bank bw’etassaawo mutemwa gwa nsimbi ez’okuliyiririra abo abeesing’aana mu mbeera ng’eno era n’asiima ab’ennono okukkiriza bakontulakita okukola oluguudo luno awatali kutaataaganyizibwa.