MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr Sam Mayanja alagidde ab’ebibanja 11 abaali baagobwa ku bibanja ng’asinziira kunsala ya kkooti ssaako alipoota y’akakiiko ka Anti- Corruption Unit gye kaakola oluvannyuma lw’abebibanja okutwalayo okwemulugunya.
Abamu ku bakadde abagobaganyizibwa e Banda
Ettaka lino lisangibwa Kakunyu mu ggombolola ye Mende mu disitulikiti ye Wakiso, ng’abebibanja 11 balumiriza Apollo Kaggwa Lutakome okulyezza kukifuba n’asendako n’ennyumba z’abatuuze.
Ekiwandiiko kya Anti- Corruption Minisita Mayanja kye yasomye kiriko ab’ebibanja 11 abali ku ttaka mu mateeka kwabo 14 Kaggwa beyawabira. Kubano kuliko Lydia namboga, Milly Babirye Mutyaba, Paul Seggane, Christine Kimuli, Teopista Zalwango Nandawula, Siraje Sebunnya, Teopista Kayanga, Susan Nabukalu, Isaac Jjombwe, Josephine Wannyana, Mesach Segawa.
Kyokka alipoota eno erambika nti bonna abalina okuddizibwa ku bibanja byabwe balina okuyisibwa mumitendera era Mayanja yasabye RDC akwatagane n’akakiiko k’ekyalo okwewala abamu okuyingira mubibanja bya bannabwe ekiyinza ate okukomyawo obutabanguko.

Minisita Mayanja ne RDC Mbabazi nga bogerako eri abakadde bebagobaganya e Banda
Mayanja yagambye nti nga February 9, 2026 kkooti yagobye omusango Kaggwa gweyawabira ab’ebibanja era nemulagira okuliyirira ab’ebibanja bonna 11 beyatwala mu kkooti ng’abavunaana okusalimbira ku ttaka lyayita erirye.
Yalagidde RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi okukulembera akakiiko k’ebyokwerinda okukola kunsonga y’ekiyumba ab’ebibanja kye bagamba nti kisulamu bakanyama ababakuba emiggo bwebaba bagenze ku bibanja byabwe.
Mayanja azzizza ab’ebibanja ku ttaka e Banda;
Mayanja bweyavudde e Kakunyu, yagenze ku kyalo Banda Central ekiri mu ggombolola ye Mende nalagira ab’ebibanja abagobaganyizibwa ku bibanja byabwe okuddamu okubikozesa era nalagira RDC Mbabazi okuwa abantu bano obukuumi.

Ettaka Kaggwa kweyali yagoba ab'ebibanja
Rehema Namagembe nga muwala w’omugenzi Samson Ssentamu yagambye Mayanja nti balumbibwa abantu ab’enjawulo nga babagamba okwamuka ekibanja kyabwe era nga lumu baakoleza ennyumba yaabwe n’ekigendererwa ky’okujokya olwo babeere nga tebakyalina webabeera.
Ab’ebibanja abalala okuli Justine Namatovu, Jonathan Senfuka Katula, Deogratius Kizza nabalala baategezezza Mayanja ng’ababagobaganya bwe babasayira emmere yaabwe ssaako okubalabula okwamuka ebibanja kuba nti ssi byabwe.
Mayanja yalagidde amyuka ssentebe w’eggombolola ye Mende, Martin Ssemujju okutwala ensonga mubuwandiike eri ofiisi ya RDC Mbabazi, kimuyambe okukola okunonyereza kubaani abakola ebikolwa bino.