Wabaddewo ekikangabwa, abaana bana ababadde bali mu kusima amayinja, ekirombe bwe kibabuutikidde babiri ne bafiirawo.
Bibadde ku kyalo Minana mu Ggombolola y'e Ttamu mu disitulikiti y'e Mityana, abaana okuli ow'emyaka Omukaaga n'omusanvu, bwe bafiiridde mu Kirombe nga basima n'okusomba amayinja.
Kigambibwa nti abaana bano, babadde bayamba ku jjajja waabwe, kyokka ng'ababiri basobodde okutaasibwa era omu ku bbo, n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mityana okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti abantu bano, baasooka ku babalabula ku kabenje akayinza okubaawo nti kyokka ne batafaayo.
Agasseeko nti emirambo gigiddwayo ne gitwalibwa mu ggwanika okugyekebejja ng'okubuuliriza kugenda mu maaso