Amawulire

New Vision ejaguzza emyaka 40 bukyanga eggulwawo

ABAKOZI ba Vision Group babakoledde  akabaga  akw’okwebaza Katonda n’okujaguza emyaka 40 bukya kkampuni eno etandikibwawo.

Abakozi ba NV nga basala cake y'okujaguza emyaka 40
By: Nsimbi Ponsiano, Journalists @New Vision

ABAKOZI ba Vision Group babakoledde  akabaga  akw’okwebaza Katonda n’okujaguza emyaka 40 bukya kkampuni eno etandikibwawo.
Akabaga kano k’abadde ku kitebe kya Vision Group mu Industrial Area mu Kampala, nga katandise n’okusaba okukulembeddwamu omukunganya ow’okuntiiko owa Vision Group Barbra Kaija.
Kano ketabiddwako abakozi abaabadde banenanikanye mu langi za kkampuni eno okuli emyufu,kyemvu n’enzirugavu.

Abakozi ba NV nga bajaguza emyaka 40

Abakozi ba NV nga bajaguza emyaka 40


Oluvannyuma lw’okusaba basaze kkeeki nga bali wamu n’akulira kkampuni eno Don Wanyama n’omukunganya ow’okuntiiko Barbra ng’oluvannyu abakozi bagabuddwa ka ccaayi.
Wanyamu bw’abadde ayogerako eri abakozi ku kabaka kano yeebazizza Pulezidenti Museveni ne gavumenti ye NRM, olw’obuwagizi bweze ewa kkampuni en’obugiyambye okusigala ng’enda mu maaso okumala emyaka 40.
Ategeezezza nti mungeri etali yabulijjo pulezidenti Museveni aze akozesa obuyinza bwe okulagira ebitingole bya gavumenti okukolegaana obuterevu ne New vision ku mikutu gyayo gyonna n’okulanga naffe.

Abakozi ba New Vision nga bali mu kusaba okw'okujaguza emyaka 40

Abakozi ba New Vision nga bali mu kusaba okw'okujaguza emyaka 40


Mungeri ey’enjawulo asiimye abalina emigabo ku kkampuni eno n’abakozi bonna olw’omulimu gwe bakola oguyambye kkampuni okusigala ng’eri ku mutindo wakati mu kusomoozebwa kw’enkyukakyuka y'ensi eyaleetebwa omuggalo gwa Covid 19.
Asiimye abamukulembera okuli ;eyali omukungaya eyasookera ddala James Tumusiime,William Pike ne Robert Kabushenga  olw’omusingi gwe basiima.
Wanyama agambye nti ekiyambye kkampuni eno okwekumira ku ntiiko kwekukola emirimu mungeri ey’ekikugu n’okumanya abantu beweerezza.

Omukung'aanya New Vision ow'okuntikko Barbra Kaija ng'ali mu kusaba

Omukung'aanya New Vision ow'okuntikko Barbra Kaija ng'ali mu kusaba


Alaze ebitukiddwako okuli okugaziya empeereza ,okutondawo emirimu ng’eyita mu pulojekiti ezenjawulo okuli omwoleso gw’ebyobulimi n’obulunzi ogwa buli mwaka  ,okusasula emisolo ,okumanyisa eggwanga ebigenda mu maaso n’ebirala ng’emyaka 40 egijja essira lyakuteekebwa ku mpeereza ey’ekigu eyambirawamu abantu.
Ayongeddeko nti kkampani ya Vision Group kyakulabirako kinene eri eggwanga lyonna era abantu bagirinamu obwesige obw’enjawulo nga bwekituuka ku mawulire okukakasa obutuufu bwago galina okubeera nga gafulumidde ku mikutu gyayo.
Ebikujjuko by’ebijaguzo bino, byatandika n’ekivvulu ky’enyimba z’eddiini ekya ba Makoma nga bino byakukomekerezebwa n’okutongoza ekolero mu kibangirizi ky’abannamakolero e Namanve.