Amawulire

Emiranga gisaanikidde kkooti ng'omuserikale agambibwa okutta abantu 2 akkirizibwa okweyimirirwa

WABADDEWO emiranga ku kkooti e Masaka ng’omulamuzi Selsa Biwaga akkirizza okweyimirirwa kw’omuserikale wa poliisi, Derrick Ssenyonga agambibwa okukuba amasasi agattirawo abantu babiri n’abalala babiri n’abaleka n’ebisago e Kalungu mu kiro ekyakeesa olunaku lw’okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.

Emiranga gisaanikidde kkooti ng'omuserikale agambibwa okutta abantu 2 akkirizibwa okweyimirirwa
By: John Bosco Sseruwu, Journalists @New Vision

WABADDEWO emiranga ku kkooti e Masaka ng’omulamuzi Selsa Biwaga akkirizza okweyimirirwa kw’omuserikale wa poliisi, Derrick Ssenyonga agambibwa okukuba amasasi agattirawo abantu babiri n’abalala babiri n’abaleka n’ebisago e Kalungu mu kiro ekyakeesa olunaku lw’okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.

Ssenyonga bw'afaanana

Ssenyonga bw'afaanana

 

Ssenyonga mukuumi wa minisita Aisha Ssekindi ng’ali wansi w’ekitongole kya poliisi ki VIPPU ekikuuma abantu ab’enkizo mu ggwanga, okweyimirirwa kyaddiridde ku Lwokusatu puliida we, Eddie Sansa okusaba yeeyimirirwe ng’atutte n’abantu babiri okwabadde Baker Kiyemba ne Baker Byekwaso okumweyimirira.

 

 

Ssenyonga avunaanibwa emisango 4 okuli ebiri egy’okulagajjala n’atta Frank Miyingo ne Gerald Katumba n’ebiri emirala gy’okulagajjala n’alumya Yafeesi Ssenabulya ne Isma Kasozi e Kyamuliibwa, bwe baali batambuza amabaluwa gaba egenti ba Hellen Nakeeya eyavuganyizza ku kkaadi ya NRM ku kifo ky’omubaka omukyala owa Kalungu.

 

 

Wabula omuwaabi wa Gavumenti Abraham Akandeho ali mu misango gino yawakanyizza okweyirirwa ng’emu ku nsonga ze yawadde kwabaddeko okuba nga Ssenyonga wa poliisi nti ekiyinza okumuwa enkizo n’ataataaganya obujulizi, kyokka puliida Ssansa n’alemerako. Omulamuzi Biwaga yayongeddeyo okuwa ensala ye ku kweyimirwa kuno okutuusa ku Lwokuna kkooti lwe yazzeemu okutuula.

Omukyala Ng'ayaziirana

Omukyala Ng'ayaziirana

 

Bwe yabadde awa ensala, omulamuzi yagambye nti Ssenyonga talina kabonero kkona kamulaga kujeemera kkooti nti engeri gy’ali owa poliisi amanyi amateeka kyokka yamulabudde obutagezaako kutaataaganya bujulizi nti kubanga kyandivirako okusazaamu okweyimirirwa kwe.

 

 

Yamulagidde okusasula akakalu ka kkooti ka mitwalo ataano ( 500,000/-) ez’obuliwo ate abamweyimiridde n’abalagira okusasula obukadde butaano buli omu ezitali za buliwo.

 

 

Kino kyatanudde ab’enganda n’emikwano gy’abattibwa n’abaatuusibwako obuvune ne batema emiranga mu ngeri y’okulaga obulumi n’obutali bumativu olwa kkooti okuyimbula gwe balumiriza obutemu.

 

 

Bano okubadde namwandu wa Katumba, Mariam Nakyanzi eyasigaza abaana ababiri n’olubuto olukulu, Nnyazaala we Margret Namanda n’abalala baalaze okutya ne bategeeza nti kino kitadde obulamu bwabwe mu matigga.

Tags:
Amawulire
Kkooti
Miranga
Kutta
Bantu
Muserikale
Kusaanikira