ABATUUZE b’e Komamboga baagala ebitongole ebikuumaddembe okusitukiramu ku kibinja ky’ababbi ekitambulira ku pikipiki ne binyagulula abantu.
Racheal Kawala, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti ebibinja by’ababbira ku bodaboda kinene wabula poliisi ekyagenda mu maaso n’okukifefetta nga gye buvuddeko waliwo abaakwatibwa , yasabye abantu buli omu okuba mbega wa munne.
Michael Buyondo ssentebe wa Kanyanya Komamboga yagambye nti abavubuka bafuuse ekizibu basala amabaati , bakuba ebituli mu mayumba ne banyagulula nga buli wiiki bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze nga kati obubbi obusinze okubeewanisa emitima be batambulira ku piki piki.
Yagambye nti enguudo ze basinga okubbirako kuliko lwa Kizannyiro , olwa Waligo n’endala bwe bakusibirako piki babuukako bonna ne batayirizza wakati ne beefuula abaludde nga bakunoonya nti bakubanja oluvannyuma bakuggyako buli kimu ky’olina ne babuukira pikipiki zaabwe ne bagenda.
Noah Mukasa ssentebe wa Komamboga Central yategeezezza nti ababbi bano batambula n’mayinja ga minzaani n’ebiso bye bakozesa okutemula abantu nga tebakyaliko budde.
Yagasseeko nti abazadde mu kitundu bayitiridde okugaanira abaana baabwe nti babbi era olukolongoola baluteeka ku bakulembeze n’abatuuze abamu nti babawalana.