GAVUMENTI etegese emisolo emikambwe gy’ereeta mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027, okusobola okwongera ku bungi bw’omusolo ogusoloozebwa.
Okusinziira ku minisitule y’ebyensimbi, baagala okusolooza obuwumbi 4,800 mu misolo emipya egireetebwa, bongere ku bungi bw’emisolo ekitongole kya URA gye kisolooza mu buli mwaka gwa byansimbi, okutuuka ku buwumbi 40,000.
Abakwatibwako bannyonnyodde
Akulira okuddukanya emirimu mu kibiina kya bannamakolero ekya Uganda Manufactures Association, Dr. Ezra Rubanda, yagambye nti nnusu 200 Gavumenti z’eyagala okuteeka ku mafuta za bulumi naye tulina okutunuulira eby’enfuna nga bwen bitambula mu ggwanga, kubanga oluusi kiba tekyewalika. Wabula yawadde amagezi nti Gavumenti yeetaaga okukozesa ssente z’esoloozezza, okuzimba ttanka z’amafuta ez’amaanyi ezisobola okutaasa eggwanga mu kaseera ng’amafuta gabuze emirimu gireme kuyimirira.
Ku nsonga y’okweyongera kw’emiwendo gy’ebintu, Rubandan yagambye nti nga bannamakolero basobola okugezaako ne batayongeza miwendo gya bintu,b olw’embeera ebeera mu ggwanga.
Ate ye omumyuka w’omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekyan KACITA, Omulangira Jjemba Kanaakulya Mulondo, yategeezezza nti buli avumenti lw’erinnyisa emisolo ku bintu kizing’amya enkulaakulaana y’eggwanga kubanga abakola ebintu,ababisuubula n’abasembayo okubigula bakendeera ekivaako
eby’enfuna by’eggwanga nabyo okukendeera.
Yagambye nti mu kiseera kino Gavumenti yandibadde eteeka amaanyi mu kuyamba bannamakolero n’abasuubuzi okulaba we bongera okugaziya bizinensi zaabwe kyokka emisolo bwegibeera waggulu embeera eno ezing’amya okukula kw’amakolero ne bizinensi kubanga abaguzi babeera batono ekiviirako n’ebyenfunan by’eggwanga okukendeera. Jjemba agamba nti mu kifo ky’okubinika emisolo ku bintu ng’amafuta Gavumenti yandibadde esoosoowaza okuyamba abasuubuzine bannamakolera okulaba
ga bongera ku bungi bw’ebintu bye bakola okusobola okuzimba ebyensubulagana n’amawanga agatwetoolodde.
Mu myaka gye 90, abantu bwe bajjanga okusuubula wano, abantu bangi abaafunamu olw’ebintu bye batunda; okugeza abali mu byentambula,wooteeri n’awalala. Omwogezi w’abasuubuzi mu Kikuubo, Sam Muyomba yagambye nti Gavumenti tekyalina kulumirirwa eri muntu waabulijjo kubanga buli lw’erinnyisa emisolo y’asinga okunyigirizibwa ate ng’obuweereza obuyambira awamu abantu okugeza eby’obulamu,enguudo, amasomero n’ebirala tebikyukako. Muyomba agamba nti okulinyisibwa kw’emisolo ku bintu abikozesebwa abantu baabulijjo kiganyula bakungu ba gavumenti n’ababaka nga beegabira emisaala emisava. Awadde abantu baabulijjo amagezi okufuba okulaba nga banyiikira okukola n’okukekkereza. Ssentebe w’ekibiina omwegattira abagoba ba ttakisi mu ggwanga, Rashid Ssekindi, yagambye nti buli Gavumenti lw’eteeka omusolo ku mafuta buli muntu anyigirizibwa. Ono agamba nti Gavumenti mu kifo ky’okuteeka omusolo ku mafuta esaanye eyanguyirizeeko ku nteekateeka y’okuyiikula amafuta g’eggwanga osanga kinaataas arouk Minaana;Buli musolo gavumenti gweteeka ku bintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo omuntu waabulijjo yasinga okunyigirizibwa naye ng’obuzibu bwonna buvudde ku bakulembeze.
Alton Ssekyaya:
Gavumenti omusolo egwagala naye bwemala okugukung’anya ate abaguwa etuganyulwamu ekintu eky’obulabe ennyo, Abantu bayambibwe. Racheal Asiimwe:
Gavumenti eno esinga kutulunya baavu kuba emisolo bwe gyongezebwa omuntu waabulijjo y’asinga okunyigirizibwa, yalemwa okuvaayo ku batunda amafuta. Kye bagamba bannayuganda kubanga obwavu bungi.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ekya National Enterprenuers and Trader’s Association (NETA), Dr. Musoke Thadeus Nagenda, agambye nti engeri Gavumenti gye teekawo enkola y’okusolooza omusolo nga yeeyambisa tekinologiya, amaanyi yandibadde egateeka mu kukwatizaako bizinensi ezitanndika okulaba nga ikula esobola okwongera ku muwendo gw’abantu b’eggyamu omusolo mu kifo ky’okuzibinika omusolo ogugenda okuziretera okuggalawo. Agamba nti buli mwaka Gavumenti ezze eyongeza musolo ku bintu ebyenjawulo naye omuntu waabulijjo tafuna wabula okunyigirizibwa