MU nsi y’okwagala, abantu beesisinkana ne wayita ebbanga lya wiiki ng’emu, n’obasanga mu maka nga beeyita mwami na mukyala.
Abalala batwala emyaka nga buli omu akyetegereza munne nga bagendera ku buwabuzi bw’abantu abamu ababagamba obutapapa kugenda mu bufumbo. Emboozi z’abamu ku baali baguddeko mu laavu, zooleka nti emitawaana bwe giti abamu bagitomerera mu kukandaaliriza ababaagala ate abalala ne bagitomera mu kwanguyiriza kuyingira bufumbo.
Okwanguyiriza okufaayo ennyo n’okussaamu ekisukkiridde: Waliwo abantu
abayingira mu mukwano n’eryanyi mu kaseera nga mwakeeraba. Omuntu
ayinza okukukubira amasimu ag’okumukumu, n’akuyiira ebirabo ebiyitirivu, nga bw’agattako n’okukusonseka obugambo obw’omujjirano nga takuweeza okukulaga nti akufa bitole. Enkola eno abakugu mu bya laavu bigiyita ‘love bombing’ era abagyeyambisa olumu baba bakutimbabbula oyitike mangu bayiseewo ebyabwe bamale badduke.
Okwewonya ebiwundu bya laavu enkadde: Mulimu abantu be batandika okukwananaye nga mu kaseera ako asangiddwa ng’omutima gwe gukyaliko ebinuubule bya laavu enkadde gye yaakavaamu. Mu mbeera bw’eti okwewonya okugwa mu mitawaana, tolina kupapa kwesogga laavu mpya, wabula kikwetaagisa okwewaayo ku kadde n’owona ebinuubule bya laavu enkadde. Mu kwewa akadde, obeerako n’essomo ly’oyigira ku biwundu bye wafuna. Okukendeeza ku bwangu bw’akufuniramu: Teekawoko emiziziko nga tamala gakutuukako buli kaseera kaayagadde ate nga naawe tomwekulubeesezaako nnyo.
Omuntu akwagala ebyannamaddala ajja kussa ekitiibwa mu miziziko gy’omuteereddewo awatali kunyiiga = Obuteetotoggola: Tolina kumwemaliramu nnyo kumubuulira
byonna ebikukwatako. Werekereyo. Obutakuba muntu bizibu: abantu abamu mu kaseera nga baakeekwana, atandikirawo okumusaba ebintu ebinene n’okumusomera olukalala lw’ebizibu ebitali bimu abimugonjoolere.
OMUKWANO MWENGE BWE GULWAWO GUKAATUUKA
Omulungi tabulako kamogo era n’okukandaaliriza akwagala nga tosalawo oyinza okuwunzika ng’olulenzi olw’ebirooto byo lukuyise mu myagaanya gya ngalo. “Omukwano masavu galiibwa gakyayokya, bw’olwawo gawola era tegaliika ate era omukwano gulinga mwenge, gye gukoma okulwawo gye gukoma okukaatuuka,” Kano ke kaama Ssenga Hamidah Namatovu ke yakubye abali mu kwogerezeganya okuyingira obufumbo.
Namatovu awabula nti emyezi mukaagamukaaga gikumala okwetegereza akwagala, nga bw’obeera osooloobyemuko tosukka mwaka. “Emyezi gino gibamala nnyo okwekebeza omusaayi n’okunoonyereza okuzuula buli ebikwata ku ffamire ye,” Namatovu bwe yayongeddeko.
Omuntu agenda okusisinkana gw’ayagala, ng’alina ennyonta y’omukwano, era ebyokulwisa akwagala bitera okucankalanya omukwano. Okusinziira ku Namatovu, mu kukandaaliriza omulenzi kimusindiikiriza okulabirangamu n’abawala abalala.
Ate mulimu n’abakazi ng’omusanze alina abasajja abalala b’ali mu kutunuulira kati naawe bw’ojja n’akugatta ku lukalala olwon n’akukandaaliriza naye gye biwunzikira
ng’alonzeeko mulala ate nga ggwe akumalidde obudde. Mu kulwawo, n’ebimu ku bintu
munno bye yakwegombako bisobolan okukendeera oba okuggweerawo ddala naddala bwe gutuula kundabika yo kuba ensusu n’emibiri gyaffen gimanyi okufuukuuka entakera.
Bwe kitaba ekyo, n’abatabaagalizan ekyama ky’omukwano gwammwen kibagwa mu matu ne bakozesa akaseera ako okusaasaanya obubaka obubalemesa okufumbiriganywa
EBIJUNGULUDDE ENKOLA EY’OKUSOOKA OKWETEGEREZA GW’OYAGALA
Okwemalamu olwa ssente: Mukisa agamba nti abantu ensangi zino omukwano baagufuula kya ttunzi era tebafa ku kwekaliriza nsonga za makulu. Era oli olubaza ng’alaba amwagala alinamu ku kasente n’ebyobugagga by’anakwakkula agenda bugenzi. Era kinokiviiriddeko abavubuka abato okubuukawo n’abantu abatali ba
myaka gyabwe lwa nsimbi.
Okulwawo okufumbirwa: Abawala abamu bafuna abasajja naye nga buli ajja bagoba
mugobe nga bwe beekwasa ensonga ezitali zimu. Ku myaka egyo babeera beeraba nga bali ku katale. Wabula bwe bakoona emyaka 30, batandika okulaba nga bakuliridde ne bapakuka okufuna abasajja bazaale, ekivaamu ne bagenda mu bufumbo awatali kubeetegereza kimala.
Mukisa awabula nti omuwala olumaliriza emisomo, kirungi n’ofunayo omusajja akukwana n’otandika okumwetegereza. Kino kikuwa akadde okumwetegereza
ng’okyali ku katale eran ne bwe muba mulemaganiddwa osobola okufuna omulala awatali kukaluubirizibwa. Naye, okukkiriza omusajja oyo, tekitegeeza kutandika kwegattanga naye, wabula onywerera ku kumwetegereza.
Emikutu emigattabantu:
Abantu abamu babeera ku bunkenke n’okupakuka nga baagala bawase oba bafumbirwe ga bagoberera ebyo bye balaba ku mikutu emigattabantu nga Facebook, Tik Tok, WhatsApp n’emirala. Wabula okwagala okukoppa bye balabye ku mikutu gino kibasudde mu laavu ez’ekikwangala