Ebintu by'abayizi abalenzi abasoba mu 200, bisaanyeewo mu muliro ogukutte ekisulo ky'essomero e Mbale. Teri muyizi yenna afudde wadde okulumizibwa era ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omukulu w'essomero Rogers Wogoli nga bali wamu ne meetulooni Moreen Nanduga, be batemezza ku poliisi esobodde okugenda mu kifo okuguzikiza naye nga gumaze okusaanyaawo ebintu by'abayizi abalenzi, ebiwerako.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti, tekinnazuulwa kivuddeko muliro, naye nga gutandikidde mu siriingi ne gubuna ebizimbe.