Amawulire

Omusamize gwe baawa emitwalo 20 okusiba omuzimu gwa Kagezi ayogedde

OMUZIMU gwa Joan Kagezi baagusibira mu ssepiki ne bagissaako oguyinja ogunene guleme kutolokamu kutawaanya baamutta, era omusamize yasasulwa mitwalo 20 gyokka.

Omusamize gwe baawa emitwalo 20 okusiba omuzimu gwa Kagezi ayogedde
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

OMUZIMU gwa Joan Kagezi baagusibira mu ssepiki ne bagissaako oguyinja ogunene guleme kutolokamu kutawaanya baamutta, era omusamize yasasulwa mitwalo 20 gyokka.


Ekibbo kyalimu eddagala eryali liyengeddwa ng'erimu, abagendayo okusiba omuzimu balinaaba eddala ne likozebwa okusiba omuzimu.

 

Buno bwe bumu ku bujulizi obw'obutambi obwazannyiddwa mu kkooti nga Daniel Kisekka atutte bambega ba poliisi ku ssabo ly'omusamize Francis Olowo e Kayunga gye baasibira omuzimu gw'eyali amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti, Joan Kagezi.


Mu butambi Kisekka annyonnyola nti ye yasooka okugenda ewa Olowo n'amutegeeza nti alina banne abalala era ne bamubuulira by'aba aleeta ebinaakozesebwa okusiba omuzimu, balye butaala nga teri amanyi mutemu ne ffayiro ebanoonyerezaako bagyerabire.


Kisekka oluvannyuma yaleeta banne okuli; John Kibuuka, John Masajjagge ne Nasur Abudallah Mugonole ne bakolwako emikolo.


Okuwulira omusango bwe kwatindika Kisekka yakkiriza emisango n'awona akalabba n'asalirwa emyaka 35 bwe yafuuka omujulizi w'oludda oluwaabi.


Akatambi akalala yabadde Olowo ng'annyonnyola ebyaliwo bwe yafuna abalwadde abaalina agazibu, nga basse omuntu. Yategeezezza nti, banne ba Kisekka baasanga alina abalwadde b'akolako, kwe kuyimiriza n'asooka akola ku bazze okusiba omuzimu.


Olowo ng'akozesa esseppiki gye yali abatumye, agamba yakumirawo omuliro n'agissaako n'agattamu eddagala n'alitokosa. Nga litokose, yavuunika essepiki n'assaako ejjinja, olwo n'abasiibula.


Omusamize ono era yalaze ekitabo mwe yawandiika abalwadde be okuva 2013 era n'abawawaabirwa nga mwebali kyokka yagambye nti baamusasula emitwalo 20 wabula yabalinda okudda okwebaza nga buteerere.


Mu kiseera kino, Olowo ali mu kkomera ku misango gy'okusobya ku mwana atanneetuuka ng'ono yali mulwadde we gwe baamutwalira okujjanjaba.


Byabadde mu kkooti ewulira emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna eya International Crimes Division mu Kampala mu maaso g'abalamuzi 4 abawulira omusango guno.


Joan Kagezi yakubwa amasasi agaamutta nga March 30, 2015 e Kiwaatule bwe yali adda awaka.

Tags:
Kagezi
Muzimu
Mitwalo 20
Kwogera
Musamize