Amawulire

Abagambibwa okutta Joan Kagezi baagenda mu 'ssabo' okusiba omusango

ABAWAWAABIRWA mu musango gw’okutta eyali amyuka ssaabawaabi wa gavumenti beekukuma mu ssabo okusiba omusango n’okubanaazaako omusaayi.

Abagambibwa okutta Joan Kagezi baagenda mu 'ssabo' okusiba omusango
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision

ABAWAWAABIRWA mu musango gw’okutta eyali amyuka ssaabawaabi wa gavumenti beekukuma mu ssabo okusiba omusango n’okubanaazaako omusaayi.

 

Mbega wa poliisi SP Damien Sserunjogi nga ye yakwata obutambi mu kuddamu okwekennenya abawawaabirwa gye baddiza emisango ,yabuulidde kkooti nti abawawaabirwa bwe baamala okutta Kagezi baddukira Kayunga ew’omusawo w’ekinnansi abambulule egy’obutemu gye baali bakoze.

Abawawaabirwa nga boogerako ne looya waabwe, Elizabeth Nampola mu kkooti enkulu gye babadde okuwuliriza obujulizi

Abawawaabirwa nga boogerako ne looya waabwe, Elizabeth Nampola mu kkooti enkulu gye babadde okuwuliriza obujulizi

 

Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga basse Kagezi ,Daniel Kisekka eyakkiriza ogw’okutta Kagezi yabuulira bambega nti Kayunga baamalayo ennaku nga bakola emikolo omuzimu gwa Kagezi guleme kubalumba wadde okubalulumira.

 

Bino bibadde mu bujulizi bwa Sserungoji eyakwata obutambi nga Kisekka abalaga n’okubabuulira ebyaliwo.

 

Kisekka yakkiriza emisango era n’asalirwa emyaka 35 n’alonkoma ne Nickson Agasirwe nti ye yabawa ssente okutta Kagezi.

 

Omujulizi omulala abadde Lydia Kantono eyakola lipooti ssaako okukola ppulaani yonna okuddayo abawawaabirwa okulaga omusango gye gwazzibwamu.

 

Kantono yakulemberwa ekibinja ky’abaserikale n’abajaasi okugenda e Kitimwa e Kayunga Ku kyalo Namabuga ewaali essabo lya Olo Francis Kaweesa gye baagenda okusiba omusango. Mu kusiba omusango bano baatwala ekibbo, esseppiki n’eddagala eddala eryabatumibwa.

 

Omujulizi asosewo bano yakulira ebyokwerinda mu kampuni ya Airtel Francis Kabera okwongera okunyikiza obujulizi bwoludda okuwaabi iu bawawabirwa.

 

Joan Kagezi yattibwa nga March 30,2015 e Kiwatule bwe yali adda awaka n’abaana be , abatemu bwe bamukuba amasasi agaamuttirawo era Kabera yawaddeyo mu kkooti olulala lwamasimu agaakubwa mu kitundu kye Kiwatule ku lunaku Kagezi lweyattibwa.

 

Kabera ategeezezza kkooti nti olukalala luliko ssimu n’obubaka bw’amasimu agaayita Ku mirongooti e Kiwaatule nga March 15, 2015 wakati wa ssaawa emu ne bbiri ez’akawungeezi.

 

Bw’abadde abuuzibwa ebibuuzo okuva mu puliida w’abawawaabirwa, Elizabeth Nampola ,Kabera abuulidde kkooti nti olukalala luno yali yalutereka bulungi kubanga yategeezebwa nti lujja kwetaagibwa mu kunoonyereza mu bbanga eritali ly’ewala.

 

Abawawaabirwa kuliko John Kibuuka , John Masajjagge ne Nasur Abudallah Mugonole .

Oludda oluwaabi lukulemberwa Thomas Jatiko ng’ayambibwako Richard Birivumbuka era baakuleeta abajulizi abalala. Wabula abawawaabirwa baataddemu okusaba okweyimirirwa nga kugenda kuwulirwa nga April 9, 2026.

 

Tags:
gavumenti
ssabo
omusaayi
SP Damien Sserunjogi