Bya Tonny Kayemba
EBIBIINA ebyanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu akaamuwanguza entebe y'obwa Pulezidenti biweereddwa Piki-Piki zibayambeko okweggya mu bwavu.

Piki-Piki ezigabiddwa
Piki-Piki zino zibakwasiddwa Aminah Mukalazi akulira ekibiina kya Local Content Unit ekigatta ebibiina eby'enjawulo ebyanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu.

Aminah Mukalazi ng'ayogera ku Piki-Piki eziweereddwayo Pulezidenti Museveni
Omukolo gw'okukwasabantu bano piki-piki gubadde mu kibangirize ky'abannamakolero e Lugogo ku kkampane ya Eagle General Traders Uganda limitted.

Aminah ng'alambuza abantu kkampane ya Piki-Piki
Ebimu ku bibiina ebifunye Piki-piki kuliko;Tonta, RRU, Bannabugerere ne NRM High Command nga Mukalazi ategezezza nga bano pulezidenti weyabasuubiza ebintu ebiwerako ng'atandikidde ku piki- piki nga n'ebibiina ebirala byakukolebwako kubanga pulezidenti yasiima omulimu gwebamukolera.