Amawulire

Bannayuganda bakubiriziddwa obutaggwaamu maanyi nga bafunye okusoomoozebwa mu byebakola

Bannayuganda bakubiriziddwa obutaggwaamu maanyi nga bafunye okusoomoozebwa mu byebakola 

Abamu ku baabaddewo nga batongoza ekitabo ekimanyiddwa We can be more. Okuva ku w'okubiri ku ddyo ye Dr. John Ekure, Polof. Francis Omaswa ate asooka ye AIGP Moses Kafeero.
By: Emmanuel Ssekaggo, Journalists @New Vision

BANNYUGANDA abakola emirimu egy’enjawulo bakubiriziddwa obutaggwaamu maanyi naddala nga bafunye okusoomozebwa mu mirimu gyabwe wabula bafube kulaba nga banoonya amagezi n’amaanyi ku ngeri gyebababa balina okusomoka okusomoozebwa okwo.
Bino byogeddwa akulira okutendeka abasirikale ba Poliisi mu ggwanga AIGP Moses Kafeeyo bweyabadde ayitiddwa okubaawo ng’omwogezi ow’enjawulo ku mukolo gw’okutongoza ekitabi ekiyitibwa ‘We can be more’ nga kyawandiikiddwa omusawo omukugu mu kulongoosa amagumba Dr. John Ekure ng’omukolo gwabadde mu Hotel Africana mu Kampala.

Okutongaza ekitabo

Okutongaza ekitabo


AIGP Kafeero yagambye nti ekimu ku nsobi Bannayuganda zebakola naddala abatandika bbizinensi wamu n’emirimu emirala, kwekuggwaamu amaanyi mu kiseera nga bafunye okusoomozebwa okw’enjawulo era bangi wano bbizinensi zabwe weziggweerawo.
Yagambye nti okusoomozebwa mu kukola emirimu egy’enjawulo tekubulawo wabula bwekuba kuzze, oba olina okusala amagezi okulaba bw’okuyitamu ate n’oyongera okukola emirimu egireeta enkulaakulana.
Kyokka yakyukidde n’abo abalowooza nti batuuka era bali bulungi nnyo, okusigala nga banoonye engeri gyebasobola okweyongerako mu bintu eby’enjawulo okusobola okwongera okugasa eggwanga.
Wano weyebalizza Dr. John Ekure olw’okuwandiika ekitabo ekisoomooza buli Munnayuganda okubaako ky’akola okulaba nga yeekulaakulanya ate n’okukulaakulakulanya eggwanga.

Kafero ng'ayogera

Kafero ng'ayogera


Polof. Francis Omaswa nga yeyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno yasabye minisitule y’eby’enjigiriza wamu ne Gavumenti okutwaliza awamu okukozesanga ebitabo ebiwandiikiddwa Bannayuganda okusomesa abayizi kubanga bino byebibaamu amagezi amatuufu agasobole okweyambisidwa Bannansi okukyusa ensi yabwe okusinga okusomesanga nga beesigama ku byawandiikibwa abazungu.
Dr. John Ekure eyawandiise ekitabo kino yagambye nti ekimu ku byamuwalirizza okukiwandiika ekitabo kino kwekuzzaamu amaanyi eri abantu abasomoozebwa mu bintu eby’enjawulo okubalaga nti embeera gyebayitamu si ye nkomerero nga basobola okugivvunuka ate nebakola ebintu ebinene mu ggwanga ebibagasa wamu n’okugasa abalala