Police ye Katwe ekutte omuvubuka ateeberezebwa okubeera omubbi wa namba plate z'emmotoka.
Akywatidwa ye Katushabe Saul ow'emyaka 26 omutuuze we Lweza mu Kajjansi Town Council mu Wakiso District.
Kigambibwa nti ono abadde abbira mu bitundu bye Lweza, Najjanankumbi, Zana, Katale, ne Nfufu.
Poliisi yatandika omuyiggo era ku lunaku lwa 28/03/2026, Police yafunye okwemulugunya era bweyatayiza kwekukwata Saul ng'asalimbira mu bitundu bye Najjanankumbi.
Kigambibwa nti bamulabye alingiza mu katuli ka gate ekyalese abakuumi by'obwananyini okwekengera ne bategezezza poliisi. Mu kumukunya Poliisi enunudde nnamba plate (08). Okunonyerezza kulaga nti ono mubi lukulwe era ekiseera kyona atwalibwa mu kooti.