Omuvubuka agambibwa okufumitira omuwala ebiso mu loogi n'amutta, akyagenda mu maaso n'okuweebwa obujanjabi, oluvannyuma lw'okugezaako naye okwetta.
Ettemu, lyabadde ku kizimbe kya Kayiwa Complex bar and lodge e Ziroobwe Central B mu kabuga k'e Ziroobwe mu district y'e Luweero eggulo.
Kigambibwa nti Boaz Namanya 26, yapangisizza akasenge mu loogi eyo n'atwalayo omuwala Caroline Kemirembe 26 era ng'eyo, kigambibwa nti gyeyamufumitidde ebiso ebyamusse.
Boaz, mutuuze w'e Kitovu mu district y'e Wakiso so ng'ate omugenzi abadde abeera Kikyusa mu Luweero.
Ensonda zigamba nti omulenzi yawerera omuwala nga bategeereganye okufumbiriganwa nti kyokka omuwala bwe yamala okusoma, n'apepeya n'abasajja abalala.
Omwogezi wa poliisi e Luwepoliisi, Twiineamazima, agambye nti Boaz oluvannyuma lwokufumita omuwala wakati mu nduulu n'emirango, abaddukanya ekifo baatuuse era ono n'agezaako okwewa obutwa era n'atwalibwa mu kalwaliro akamu gye bamukuumira ng'afuna obujanjabi.
Ayongeddeko nti ekiso ekyakozeseddwa mu ttemu, bakifunye nga n'omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kasana ng'okubuuliriza, kugenda mu maaso