MINISITA wa Gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi alagidde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule okubaga ebbaluwa eragira abakulira abakozi ba Gavumenti ku disitulikiti okulabula ba ssentebe ba disitulikiti ku mmotoka ezaabaweebwa Gavumenti.
Kiddiridde okulabikirako mu kakiiko akalondoola ensonga z'abakozi ba Gavumenti mu Gavumenti ez'ebitundu ( Public Service and local government) ababaka ne bamuloopera nti ba ssentebe bano naddala be bawangula mu kalulu baatandika okozesa obubi emmotoka zino nga n’ezimu zitandise okusensebuka.
Ensonga eno yayanjuddwa omubaka Nancy Acora (mukazi/Lamwo) eyaloopedde minisita Magyezi nti awulira mu disitrulikiti z’enjawulo ba ssentebe abawangulwa mu kalulu akaggwa bawera obutazzaayo mmotoka .
Buli lwebazivuga , yagambye bagenda beewana nti Pulezidenti Museveni yazibawa era abagenda okubaddira mu bigere balinde ezaabwe .
Minisita awabudde nti, buli mukulembeze yenna eyaweebwa ekintu kya Gavumenti okulondoola emirimu asaanye okukikwata obutiribiri era obuweereza bwe bwebuggwako alina okukiwaayo.
Bano mu mwaka gw’ebyensimbi 2025/2026 Gavumenti yabawa mmotoka kika kya Toyota Double Cabin pickup 176 nga kwaliko n’eza ba mmeeya n’abakulira munisipaali ezamalawo obuwumbi 35 n’obukadde 200.
Mu budde buno ebidduka minisita yagambye tebiyinza kubaggyibwako kubanga tebannawaayo offiisi naye anasangibwa nga ayonookye ekyamuweebwa etteeka li Uganda public service standing orders (2021) lyakumukwata.
Ku nsonga ya ba ssentebe ba disitulikiti alagidde abakulira abakozi ba gavumenti ku disitulikiti okulondoola ensonga n’alabula abaweebwa obugaali ne piki.