Amawulire

Aba UVTAB bafulumizza ebigezo by'abayizi abatuula mu Nov ne Dec 2025

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’emikono  ki Uganda vocational and technical assessment board UVTAB kifulumiza ebigezo bya bayizi abatuula mu November ne December omwaka 2025

Minisita JC Muyingo ng'afulumya ebigezo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Aidah Nakazzi

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’emikono  ki Uganda vocational and technical assessment board UVTAB kifulumiza ebigezo bya bayizi abatuula mu November ne December omwaka 2025

Abayizi abatuula ebigezo bino baali emitwalo 27,460 mu centres 543 nga ku bano emitwalo 26,912 baakola bya certicate ate 548 ne bakola ebigezo bya diploma Kubayizi 27,460,abayizi abawala baali omutwalo 11,169 abalenzi 16,291

Aba UVTAB nga bafulumya ebigezo

Aba UVTAB nga bafulumya ebigezo

Ku mulundi guno abaana abawala beyongede  okwenyinjira mu misomo gye by'emikono  okuvira ddala ku bitundu 36 ku buli kikumi mu 2024 okutukira ddala ku bitundu 41 ku buli kikumi omwaka 2025

Onesmus oyesigye nga yesabawandisi we ekitongole kino ategezeza nga ekitongole bwekikyetaga obutitimbe bw’ensimbi okusobola okutukiriza ebyetaagisa emisomo gino okugenda mu maaso.

Okufulumya ebigezo bvya UVTAB

Okufulumya ebigezo bvya UVTAB

Minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Hon Moriku Kadicu yeebazizza nnyo omukulembeze w'eggwanga YKTM eyalabira ewala n'atondawo ekitongole kino ekikoze ennyo  mu kuyamba  abaana beggwanga okusoma emisomo ejisobola okubawa emilimu nebeyimirizawo munsi eno

Ye Minister avunanyizibwa ku byenjijiriza ebya wagulu Dr JC Muyingo  wano wakubiriza abayizi Bonna mu ggwanga okwettanira emisomo gy'emikono kibasoboseze okulekelawo okusabiriza