Bya Aidah Nakazzi
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’emikono ki Uganda vocational and technical assessment board UVTAB kifulumiza ebigezo bya bayizi abatuula mu November ne December omwaka 2025
Abayizi abatuula ebigezo bino baali emitwalo 27,460 mu centres 543 nga ku bano emitwalo 26,912 baakola bya certicate ate 548 ne bakola ebigezo bya diploma Kubayizi 27,460,abayizi abawala baali omutwalo 11,169 abalenzi 16,291

Aba UVTAB nga bafulumya ebigezo
Ku mulundi guno abaana abawala beyongede okwenyinjira mu misomo gye by'emikono okuvira ddala ku bitundu 36 ku buli kikumi mu 2024 okutukira ddala ku bitundu 41 ku buli kikumi omwaka 2025
Onesmus oyesigye nga yesabawandisi we ekitongole kino ategezeza nga ekitongole bwekikyetaga obutitimbe bw’ensimbi okusobola okutukiriza ebyetaagisa emisomo gino okugenda mu maaso.

Okufulumya ebigezo bvya UVTAB
Minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Hon Moriku Kadicu yeebazizza nnyo omukulembeze w'eggwanga YKTM eyalabira ewala n'atondawo ekitongole kino ekikoze ennyo mu kuyamba abaana beggwanga okusoma emisomo ejisobola okubawa emilimu nebeyimirizawo munsi eno
Ye Minister avunanyizibwa ku byenjijiriza ebya wagulu Dr JC Muyingo wano wakubiriza abayizi Bonna mu ggwanga okwettanira emisomo gy'emikono kibasoboseze okulekelawo okusabiriza