FFAYIRO y'omusango gw'omusajja agambibwa okutemaatema abaana e Ggaba n'atta bana n'okulumya abalala, ewedde era ng'ekiseera kyonna, waakusimbibwa mu kkooti abitebye.
Mu ngeri y'emu era poliisi eri mu kunoonyereza ku musango omulala, omusajja ono mw'agambibwa okutta omuntu mu mwaka gwa 2018 n'abulawo.
Ettemu lino mwe battidde abaana abana, lyabadde ku ssomero lya Ggaba Early Childhood Day Care , era nga poliisi yakutte Christopher Okello Onyum, agambibwa okubatema.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti bamaze okumuggyako sitatimenti era ne ffayiro n’eweerezebwa ew’omuwaabi wa gavumenti okugyekenneenya nti n'oluvannyuma asimbibwe mu kkooti.
Ku ky'okuba nti omusajja ono ayinza okubaako ekikyamu ku bwongo, Kituuma , ategeezezza nti obwo buvunaanyizibwa bw'abasawo abakugu okuzuula ekituufu nti naye bo nga poliisi , ogwabwe guwedde nga balindiridde kumusindika mu kkooti.