OLUPAPULA lwa Bukedde luleese ebigezo bya pass PLE ebiggalawo olusoma olusooka okuyambako abayizi okwegezaamu n’okulaba bwe bayimiridde.
Ebigezo bino bye bisookedde ddala ku mutendera gwa pulayimale bukya minisitule ya byanjigiriza erangirira enteekateeka y’ebyensoma empya ey’okugezesa abayizi okusinziira ku busobozi bwabwe. Akulira okusaasaanya amawulire ga Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde, Bruce Byaruhanga, yagambye nti kino bakikoze okuyamba abayizi n’abasomesa b’amasomero amatonotono okutandika okwegezaamu ku ngeri y’okwanukulamu ebigezo.