Poliisi nge'ddumira DPC we Katwe Innocent Mubangizi nga bali wamu n'ekitongole kya Crime intelligence ekya KMP nga kidduumira Julius Isabirye basiibye ku Muganzirwaza nga banonnya piki-piki eziteberezembwa okuba ezimbe.
Aba Poliisi nga bekebejja ebyuma bya Piki-Piki
Ab'ebyokwerinda okukola ekikwekwto mu kifo kino kyaddirira ababbi okutemula oa Boda ne bamubbako Piki-piki wabula akuuma akalondoola ne batwala mu kifo kino.

Aby'ebyokwerinda nga bekenneenya ebyuma bya Piki-Piki

Ebyuma bya Piki-piki
Mu kikwekweto kino Poliisi ezudde number plate ezibadde zasulimbwa mu kabuyonjo nga n'ezimu zawanikibwa wagulu mu sirigi, Number Plate zigyiddwayo era nga spare asagiddwa mu kifo kino atwaliddwa ku poliisi ye Katwe.
Era wano poliisi esabye buli omu eyabimbwako pikipiki ye okugenda ku poliisi ye Katwe okusobola okulaba pikipiki zaabwe.

Aba Poliisi nga batuuka e Katwe