OMUSAJJA agambibwa okweyita omusirikale w'eggye erikuuma President n'atiisatiisa abantu n'ekibundu ekijingirire, poliisi y'e Nateete , emukutte.
Ono, kigambibwa nti asangiddwa ne pisito enkolerere, omujoozi okuli ebigambo SFC / UPDF n'engatto ezeefaananyiriza ez'ekijaasi era nga bakyamukunya.
Kidiridde abantu okwekubira enduulu ku poliisi, nga bwe waliwo omujaasi abadde abatiisa okubakuba amasasi e Busega ku luguudo lwa Nothern by pass, nti era poliisi y'e Nateete, kwe kumukwata , mu kumwaza, ne bamusanga n'ekibundu n'omujoozi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti y'aliba ku kibinja ekirudde nga kibba n'okutulugunya abasaabaze ku luguudo lwa Nothern by pass mu Kampala