Embeera y'ebyokwerinda embi mu Luzira eyongedde okwewanisa abaayo emitima nga balumiriza nti esinga kuleetebwa baana bato nga n’abamu batoloka ku masomero ne batigomya abantu.
Kino kyekiwalirizza ssentebe wa L.C II mu kitundu kino, Nnalongo Monica Wanyama okuyita olukiiko olwetabiddwamu banannyini masonero n'abakulembeze b'ekitundu okutema empenda ku ngeri y'okumalawo ekizibu kino.
Obuzibu obusinga babutadde ku banannyini masomero n'abazadde abatakoze kimala mu kulondoola abaana bano nga kibawadde ebeetu okwetaaya nga bwebalabye n'okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka obutali bumu.
Ssentebe Wanyama ategezezza nti abaana ababatigomya nga bava mu masomero bubeera bunafu bwabanannyini masomero nga bano tebalina byakwerinda bimala okulondoola obudde omwana w’ayingiridde ne w’afulumidde kw’ossa ensonga entuufu emufulumya.
Ajukizza banannyini masomero ku bulumbaganyi obw’enjawulo obuzze bukolebwa ku masomero nga n’abamu ku bayizi babufiiriddemu n’abasaba obutakirinda kutuuka waabwe nga balina okutereeza amangu eby’okwerinda.

Abatuuze nga bali mu lukiiko
Ategezezza nti abavubuka bano benyigira mu bubbi obwenjawulo naddala mu budde bw’ekiro omuli, okusika obusawo, akunyakula amasimu, nga n’oluusi bayingira mu mayumba g’abantu nebabba.
Awadde eky’okulabirako eky’omuwala gweyataasa ku bavubuka bwebaali bamusikambula nga era gyebyaggwera nga essimu ye bagimubbyeko.
Akulira essomero lya Luzira SS, Peter Ssenyimba ategezezza nti bwebaba baakutereeza byakwerinda buli omu alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.
Asabye abazadde okusitukiramu nga bukyali bakwatagane n’abasomesa singa balaba embeera etali ya bulijjo ku mwana bafube okulaba nga bamulunngamya.
Kyokka anenyezza nnyo abantu abesuulirayo ogwanaggamba mu by’okwerinda n’abajjukiza nti eby’okwerinda tebirina gwebisosola era bwebyonooneka buli omu akosebwa.
Stephen Sebuwufu akiikiridde atwala poliisi ye Kitintale, Hilda Kwarisiima ategeezezza nga bwebakizudde nga abaana b’amasomero bekolamu obubinja nebatigomya abantu nga negyebuvuddeko waliwo abaakwatibwa nebatwalibwa mu kooti nebavunaanibwa.
Ategezezza nga bwebali mu kawefube okufuuza obufo bwonna obutera okwekwekamu abamenyi b’amateeka naddala mu budde bwekiro nga om uku kawefube w’okutereeza eby’okwerinda.
Kyokka akyukidde ab’amasomero abatafaayo kutegeeza ku poliisi nga balina emikolo gyebategese ku masomero kyokka webafuna obuzibu nebaddukira gyebali nga babanenya.
Asabye abatuuze okwewala okutwalira amateeka mu ngalo wabula baloope mangu mu b’obuyinza nga balina ensonga yonna gyebekengedde