Amawulire

Abagambibwa okubeera mu lukwe lw 'okubba essundiro ly'amafuta Poliisi ebakutte

Abavubuka basatu abebijambiya abagambibwa okuba mu lukwe lw'okugezaako okwagala okubba essundiro ly'amafuta e Salaama mu Makindye, bakwatiddwa poliisi.

Abavubuka abakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abavubuka basatu abebijambiya abagambibwa okuba mu lukwe lw'okugezaako okwagala okubba essundiro ly'amafuta e Salaama mu Makindye, bakwatiddwa poliisi. 

Olukwe, kigambibwa lubadde lulukiddwa okubba essundiro ly'a mafuta erya Nesta Petrol Station ku luguudo lw'e Salaama mu Kampala kyokka  ne lugwa butaka bwe babakutte. 

Amajambiya agakwatiddwa n'abavubuka

Amajambiya agakwatiddwa n'abavubuka

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti olukwe balutegedde ggulo, nga bano, bwe baabadde bapanze balumbe ku ssaawa ssatu ekiro kwe kubateega ne babakwata n'amajambiya ne babaggalira