Amawulire

Nadduli Kibaale atenda ekirabo Kabaka kye yamuwadde

OMUTAKA Daniel Nadduli Kibaale alaze bw’akyabugaanye essanyu olwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumusiima n’amulambula mu maka ge ate n’amuwa ekirabo ekikyasinze okuba eky’ekitiibwa ate eky’ekyafaayo mu bulamu bwe.

Nadduli Kibaale (ku kkono) n’omuyambi we Swaib Ssentoogo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUTAKA Daniel Nadduli Kibaale alaze bw’akyabugaanye essanyu olwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumusiima n’amulambula mu maka ge ate n’amuwa ekirabo ekikyasinze okuba eky’ekitiibwa ate eky’ekyafaayo mu bulamu bwe.
Yagambye nti, okwaniriza Kabaka kye kyasoose okumuwa essanyu ly’abadde akyaludde okufuna era n’obukosefu bwe yafuna bwe yaseerera ku madaala, nabwo akaseera ako bwamwamuse nga takyalina bulumi bw’awulira!
Kabaka yamulambudde wiiki ewedde mu maka ge ku kyalo Nakukuba ekisangibwa e Ssanga-Matugga mu munisipaali y’e Nansana mu Wakiso. Bukedde yamukyalidde n’ayogera ku bugenyi bwa Kabaka obw’enjawulo era obw’ekitiibwa bwe yafunye.
Yagambye nti, yamutwalidde ebirabo bingi naye ky’asobola okwogerako ye kkanzu gy’atalabangako engeri gye yawundibwa gye yamukwasizza. Nadduli Kibaale yagambye nti, byonna ebyabaddewo, kaabadde kabonero akalaga obwesigwa, omukwano n’okutumbula ennono era n’okutuusa kati akyabugaanye essanyu.
Yagambye nti, baayogedde ku bintu bingi era yeebazizza Kabaka okugatta n’okukulaakulanya Obuganda, okutumbula ennono. Yasiimye abatuuze b’e Ssanga abaalabye nti Kabaka asiimye n’amulambula ne batuuka mu kaseera akatono, ekifo kyonna ne kibuguma olw’abantu abeesombodde okulaba ku Beene.
Yeewuunyizza eyabagambye kuba mu sikonda ntono, ekifo kyabadde kibooze nga n’eng’oma zaatandise dda okusindogoma okulaga Empologoma essanyu.
Yasiimye Obuganda olw’engeri gye bwegasse n’okwagalamu Kabaka kyokka n’asaba abakulembeze ab’ennono balung’amye ku mannya amangi agayitibwa Kabaka kuba agamu tegatuukiridde wadde abakikola bagenderera kulaga busukkulumu.
Ku kumulaga Omulangira Ssemakookiro, Nadduli Kibaale mu ssanyu yategeezezza nti mu nnono, Abalangira baba bakolagana nnyo
ne Kibaale kuba y’asobola yekka okubagambira ku Kabaka nga wabaddewo kye baagala.
Ku mbeera y’ebyobufuzi mu ggwanga, yasiimye okulonda okubaddewo nti kwawedde bulungi nti kati kino kiseera kya kukola abantu bagaggawale. Yayogedde ku mbeera y’obwavu, n’agamba nti bulwanyisibwa na kukola era ye mu biseera bye eby’okukola, yali tatuula era yakola n’agaggawala ne kati akyakola.
“Nasimba yiika z’emmwaanyi 25 okulaga abantu nti okulima bugagga naye ate nnina n’ebyuma ebikuba emmwaanyi n’ebyobugagga eby’enjawulo ate n’e Bbunga nninawo ebyobugagga bingi era abavubuka bakimanye nti okukola kwe kugaggawaza, si byabufuzi bye balimu,” bwe yagambye.
Ku kuba omuwabuzi wa Pulezidenti, yagambye nti abumazeeko emyaka 20 era akyabuliko ate abwenyumirizaamu. Yagambye nti, okuwabula kigazi kuba oyo akulonze omuwabule y’akubuuza ku ky’ayagala okumanya naye si ggwe buli kiseera kugenda nti omutwalidde magezi.
Yasiimye Pulezidenti Museveni n’amusabira Katonda amuwe emirembe n’obuwangaazi. Ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, yagambye nti ayongere okwagazisa abantu okukola kuba kabonero kalungi eri Obuganda