AVUNAANIBWA ogw'okutta abaana e Ggaba, Christopher Okello yabuulidde omulamuzi Alice Komuhangi owa Kkooti Enkulu nti, afuna ebirowoozo ebizibu era lumu yali ayagala kumenya bbanka n’okutta ffamire ya mukwano gwe agisaanyeewo.
Okello bakira akutte empapulakw’asoma obujulizi ng’agezaako n’okukola ebikolwa nga
bw’amasula emikono, yagambye nti, n’abantu ab’enjawulo be yasanga mu bulamu, akkiriza nti, balina kye bakola ekyakyusa obulamu bwe ng’osanga byamuviirako okutta abaana. Yayongeddeko nti, tayagala kukkiriza nti, yatta abaana, wabula teyakikola mu bugenderevu kuba ye musajja ayagala abaana oluusi agabira n’abaana b’oku nguudo ebyokulya.
Abaana b’agamba okugabira ebyokulya omu ku bo gwe yaleese nga omujulizi, ssaako
muganda we ate abajulizi abalala babiri essimu zaabadde teziriiko wabula basuubirwa okujja leero (Mmande) ssinga banaaba bafunise. Okello yabuulidde kkooti nti, yasanga abantu ab’enjawulo n’okwogerezeganya nabo, abamu bali na mu myaka emitiini ne bamubuuzangako ne beeyongerayo.
Abalina emmotoka ez’omulembe eziriko abantu bano mu kiti kino baayambalanga bulungi, nga balina empuliziganya walkie talkies' nga basirifu nnyo n’enneeyisa ey’enjawulo.
Omutendera ogusembayo, Abasatu baali si ba njawulo era ne ndowooza nti, baali ttiimu emu Oweekitiibwa, kino ndowooza kiyamba okwewozaako era abajulizi be nnina basobola okuyambako. Nga mmaliriza nzikiriza nti, kkooti terina kussa kitiibwa ku ttemu kuba oludda oluwolereza lulaga waliwo ebyankaka okukola ekyaliwo nga April 2, 2026. Kkooti terina kukkiriza misango gino kuba tebaakola kunoonyereza kumanya nti, oba saakigenderera. Tusaba emisango gigobwe.
KKOOTI EGAANYI OKUYITA AB’E BUTABIKA
Looya wa Okello yasinzidde ku bujulizi bwa muganda wa Okello n’asaba kkooti bayite abasawo b’e Butabika babuulire kkooti oba Okello yaliko omulwadde kyokka omuwaabi wa Gavumenti, Jonathan Muwaganya yakiwakanyizza nti, tewali kyesigamwako nga n’amateeka galagira kuleetebwa ng’omuwawaabirwa tanneewozaako.
Omulamuzi mu nsala ye okugaana okuyita ab’e Butabika, yagambye nti, Okello agamba teyagenderera kutta baana era yalina abamukaka n’okumuggyako ssente era Okello mulwadde wa siikoseero naye omutwe gukola bulungi era abadde agoberera buli kimu mu kkooti.
Yayongeddeko nti, oludda oluwaabi bwe lwamalirizza obujulizi, byonna ebyamubuuliddwa ng’abitegeera bulungi, ekiwa kkooti obukakafu nti, Okello omutwe gwe mulamu.
Omulamuzi yagambye nti, omusango bwe gwaleetebwa mu April 13, 2026, ebibadde bigenda mu maaso byonna abadde abitegeera bulungi. Muganda wa Okello gwe agaanyi okwogera ebimukwatako, yasoose kubuulira kkooti nti, yamanyaako nti, yatwalibwa e Butabika kyokka teyamanya kyamutwalayo n’engeri gye yavaayo okugenda mu America.
Yagambye nti, yaddamu okulaba Okello ku poliisi e Kalabagala nga bamukutte ku by’okutta abaana naye teyayogera naye