PALAMENTI eyisizza embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2026-2027 nga ya buwumbi 84,391 ng’essira lissiddwa ku kwongera omutindo ku bulimi.
Lipooti eyasomeddwa omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko ka bajeti, Remegio Achia (Pania) mu lutuula olwakubiriziddwa Sipiika Anita Among yalaze nti, Gavumenti essira egenda kulissa ku kusoosowaza omutindo ku byobulimi.
Ebyobulimi byaweereddwa obuwumbi 2,264 ng’amaanyi Gavumenti eyagala kugassa ku kwongera ku bungi bw’abalimisa, eby’okukungula ebirime n’engeri gye bikwatibwamu, okunoonya obutale n’okwongera omutindo.
Embalirira eyasooka okwanjulwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi ku ntandikwa y’omwezi yali ya buwumbi 84,200. Kyokka oluvannyuma yagasseeko obuwumbi 191 okukola omugatte ogwa 84,391.
Ebirala Gavumenti by’eyagala okussaako essira kuliko, ebyobulambuzi ebyaweereddwa obuwumbi 571, eby’amafuta n’okulaakulanya eby’obugagga by’omu ttaka kiriko obuwumbi 435, ebya ssaayansi ne tekinologiya biweereddwa obuwumbi 1,116.
Enteekateeka ya PDM eweereddwa obuwumbi 1,084, enteekateeka y’okukakasa okutunda ebweru w’eggwanga (export guarantee scheme) - obuwumbi 180, enkola ya GROW - obuwumbi 75, ekitongole kya Uganda Development Corporation - obuwumbi 454, Uganda Development Bank - obuwumbi 442, Emyooga - obuwumbi 100 n’ebirala.
Okunyweza ebyokwerinda n’obutebenkevu - obuwumbi 10,202, okutegeka empaka za AFCON - obuwumbi 496, okuzimba enguudo n’eggaali y’omukka - obuwumbi 8,788, ate obuwumbi 2, 068 buteereddwa ku masannyalaze naddala okugatuusa mu bitundu gye gatali.
Palamenti yaweereddwa obuwumbi 1,226, nga kuno kuliko obuwumbi 166 n’obukadde 80 ez’okugulira ababaka ba Palamenti y’e 12 emmotoka nga buli omu waakufuna obukadde 315.
Essiga eddamuzi - obuwumbi 651, eby'obutonde bw'ensi - obuwumbi 514, eby’amakolero byaweereddwa obuwumbi 1,048, Gavumenti ez’ebitundu - obuwumbi 2,160, okusasula amabanja g’ebitongole bya Gavumenti - obuwumbi 656, eby’amayumba n’okukulaakulanya ebibuga - obuwumbi 488.
Bajeti y’omwaka guno yali ya buwumbi 72,200 nga Gavumenti egamba nti, okulinnya kwavudde ku pulojekiti ez’enjawulo ezigenda okukolebwa nga okuzimba oluguudo lwa Kampala - Jinja Express way, Standard Guage Railway, okuzzaawo eggaali y’omukka, okutuusa amasannyalaze mu bibangirizi by’amakolero nga kuno bagenda kusaasaanyizako obuwumbi 1,380.
Ebirala, kuliko okumaliriza okukola enguudo - obuwumbi 918, okwongeza omusaala gw’abasomesa aba Arts mu pulayimale, siniya, BTVET, okwongeza omusaala gw’abamagye ssaako okulongoosa embeera abakozi ba Gavumenti mwe bakolera nga biweereddwa obuwumbi 1,160.
Okutumbula ebyobulamu n’okukakasa ng’eddagala libeerayo mu malwaliro - obuwumbi 556, okutuukiriza obweyamo ku kutegeka empaka za AFCON - obuwumbi 496, okwongera omutindo ku buweereza bw’ennyonyi ya Uganda Airlines - obuwumbi 145.
SSENTE GYE ZIGENDA OKUVA
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA kyalagiddwa okukung’aanya omusolo gwa 44,500 ezigenda okuyambako okutambuza bajeti.
Ensimbi endala zigenda kuva mu kitavvu ky'amafuta ekya Petroleum Fund - obuwumbi 1,442, okwewola ebweru - obuwumbi 11,974, Gavumenti z’ebitundu za kukung’aanya obuwumbi 339, ate ensimbi endala za kwewolebwa okuva wabweru w’eggwanga n’ebitongole ebigaba obuyambi.
Wabula waabaddewo okusika omuguwa ku buwumbi 305 ezaateereddwa ku ddwaaliro ly’e Lubowa ng’ababaka bagamba buli mwaka liweebwa ssente naye nga tebalaba kivaayo.
Ekibulayo y’embalirira eno okutwalibwa ewa Pulezidenti, agisseeko omukono n’oluvannyuma esomerwe eggwanga mu June ate etandike okukola nga July 1, 2026