WASHINGTON, America
ABAKUUMI ba Pulezidenti wa America, Donald Trump baabuguutanye okumutaasa ne mukyala we ssaako omumyuka we oluvannyuma lwa mukwatammundu okwesogga ekifo we baabadde ng'abagalidde emmundu bbiri n'asumulula amasasi.
Trump (79) yabadde ku kabaga ka bannamawulire abagasaka mu maka g’Obwapulezidenti aga White House, mukyala we Melania Trump, omumyuka we JD Vance, baminisita, ebikonge bya Gavumenti ne bannamawulire abasukka mu 100, omutemu n’atuuka.
Baabadde ku Washington Hilton Hotel mu kibuga Washington ng’omukolo gugenda mu maaso tabbu n’egwa. Olwo omusajja eyategeerekese nga Cole Tomas Allen ow’emyaka 31 abeera mu ssaza ly’e California, yabadde ayise ku bakuumi n’ayingira wooteeri okwolekera we baabadde batudde.
Ekisenge kyabadde kikubyeko okusinziira ku mawulire ag'enjawulo ng’abanene bali mu kuwayaamu n’abagenyi nga bwe balya, okunywa n’amasanyu amalala ne beekanga amasasi. Gaavugidde akabanga kyokka ekyaleetedde buli yabadde ku mukolo okutabulwa, ye Trump oluvannyuma yagambye nti bwe yasoose okugawulira, yalowoozezza nti ‘tray’, luyite olusaniya, lwe luvudde ku mmeeza ne lugwa.
Abaabadde mu maaso gy’agenda n’abaabadde emabega baasumuludde emmundu eyavuze wooteeri yonna n’eyuuguuma. Olwo n’abakuumi abaabadde ebweru baabadde bategedde ekigenda mu maaso nti embeera etabuse.
Mu kadde katono, emmundu ennene n’entono zaasazeeko ekifo nga ne mu kisenge Trump mwe yabadde, abawanvu n’abampi basazeeko baamwebulunguludde ne bamufulumya mu bukuumi obw’amaanyi ne mukyala we ssaako abeebitiibwa abalala.
Trump yasoose n’akuumirwa wansi mu kisenge kya wooteeri ng’abakuumi bwe balwana okukwata omutemu. Baamufunzizza mu kulwanagana okw’amaanyi n’agwa ebissi bye yabadde nabyo ne biwandagala.
Embeera ng’ekkakkanye, Trump baamutadde mu mmotoka ye ekika kya Beast ne bamuzza mu White House. Eyo gye yakubidde olukiiko lwa bannamawulire n’ategeeza bw’atalina kimutuuseeko.
Mu kisenge awaabadde omukolo, bannamawulire abamu baabadde bakuba bifaananyi okulaga ekigenda mu maaso kyokka abasinga n’abagenyi abalala nga bali wansi wa mmeeza ng'amasasi geesooza.
Aba Secret Service baagenze baggyawo omunene omu ku omu okutuusa lwe baabamazeewo nga babakweka mu bisenge. Trump yalaze bwe yabadde ayagala addeyo ku mukolo kuba omutemu yabadde akwatiddwa kyokka n’ategeezebwa nti, omukolo tegukyasobola kugenda mu maaso.
Wano we yagambidde nti bajja kuguddamu mu mwezi nga gumu nga munene n’okusinga ogwabadde gutegekeddwa. Poliisi ng’ekolagana ne bambega ba FBI, baayazizza amaka g’omusajja eyakwatiddwa okumanya ebimukwatako.
Oluvannyuma baategeezezza nti, omusajja ono eyasangiddwa n’emmundu bbiri ez’amaanyi okwabadde n’ebiso mu kisawo, baamwogezezza n’ategeeza nti yabadde ayagala kutta bakungu ba Trump. Akola nga ssaabawolereza wa Gavumenti ya America, Todd Blanche yagasseeko nti wadde omusajja oyo yabadde ayagala kutuusa bulabe ku bakungu ba Gavumenti, ne Pulezidenti yabadde ayagala kumusaanyaawo.
Poliisi teyamatidde ku bye yabadde yaakafunawo nga ne we bwazibidde eggulo yabadde ekyanoonyereza ekyabagudde omusajja oyo okulumba ekifo ekyo. Okunoonyereza kwalaze nti, omusajja ono alabika yalinnye eggaali y’omukka ng’ategedde nti Trump aliko ekyeggulo ky’agenda okubeerako ne bannamawulire n’alumba.
Kiteeberezebwa nti, yafunye ekisenge okumpi ne wooteeri emmundu ze yazze nazo ezirabika nga yazireese si ng'atte, n’aziyungiramu n’afuluma ng’aziwanze amasasi. Guno si gwe gusoose okwegeza mu Trump, ogwasooka yali mu kunoonya kalulu mu ssaza ly’e Pennyslvania, baamukuba amasasi erimu ne limuyita ku kutu. Eyagakuba yattibwa ng'alwana ne poliisi.
Waliwo n’omusajja omulala eyasangibwa ku kikomera ky’amaka ge agasangibwa mu ssaza ly’e Florida ng’alina emmundu n’akwatibwa. Olwo Trump yali mu kisaawe ng’azannya golf, omuzannyo gw’asinga okunyumirwa.