Amawulire

OBUBBI BWA BOODA:Poliisi etadde akazito ku bakolera mu Wansoso e Katwe

POLIISI etuuzizza olukiiko lw’abasuubuzi abatuda sipeeya omukadde owa pikipiki mu Wansanso zooni e Katwe n’ebassaako akazito lwaki bagula n’okutema pikipiki enzibbe Olukiiko lwakubiddwa omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Gerald Twishine eyatadde akazito ku basuubuzu lwaki beenyigira mu bubbi n’abalagira okwogera abeenyigira mu kutema pikipiki nga ezisinga ku zo zibbidwa ku bagoba baazo n’abamu ne battibwa.

Twishimye ng’ayogerera mu lukiiko eri abakolera mu Wansanso zooni ku Lwomukaaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI etuuzizza olukiiko lw’abasuubuzi abatuda sipeeya omukadde owa pikipiki mu Wansanso zooni e Katwe n’ebassaako akazito lwaki bagula n’okutema pikipiki enzibbe Olukiiko lwakubiddwa omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Gerald Twishine eyatadde akazito ku basuubuzu lwaki beenyigira mu bubbi n’abalagira okwogera abeenyigira mu kutema pikipiki nga ezisinga ku zo zibbidwa ku bagoba baazo n’abamu ne battibwa.
“Kiki ekibateeka mu bubbi bwa ppikippiki kuba nkimanyi abasinga mwerimbika mu kunoonya ssente naye nga mumaze okuyiwa omusaayi kati njagala mutubuulire baani be mumanyi abaenyigira mu kutema pikipiki mu kitundu kino era mutubuulire amannya gaabwe”Twisihie bwe yagambye abaabadde mu lukiiko.
Yategeezezza nti era waliwo abantu abalina okunoonyerezebwako nga ne ssentebe wa LC eya Wansanso, Yonasani Kaweesa kuba buli omu amwogerako n’okumulumirizza nti pikipiki ezibbibwa n’okutemebwamu sipeeya azimanyiiko ate nga ne bwe baali mu lukiiko lwa LC1 ne II e Makindye nga April 2026 mu bbalakisi bassentebe banne bamulumiriza okusiba obubbi n’obumenyi bw’amateeka.
Abasuubuzi bwe baakasiddwa akazindaalo okuteesa baabuulidde poliisi abamu ku be bamanyi abeenyigira mu kugula pikipiki enzibe ene baboogera n’amannya.
Bashir Kasimba omu ku bakolera mu Wansanso zooni yabuulidde abaserikale nti abamu ku bamanyiddwa okugula pikipiki enzibe ne bazitema kuliko Muwonge , Ssekamwa ne Mahad nga bano bakolagana n’ababbi abazibba.
Abasuubuzi abalala baalumirizza Ssentebe Kaweesa okuba ne ky’amanyi ku pikipiki ezibbiddwa kuba buli ereetebwa mu kitundu ewandiikibwa wamu n’oyo agireese ng’alina okuvaayo abannyonnyole.
Omuduumuzi wa poliisi mu kitundu kya Kampala South yagambye Rogers Sseguya nti abasuubuzi balina okunnyonnyola naddala abatunda sipeeya omukadde wa gye bamugya n’okumusuubula kuba waliwo obujulizi obulaga nti ebintu bye baazudde pikipiki zabbibwa ku bagoba baazo ne zitemebwamu sipeeya.